|
| 1 |
|
| Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli agwettanira talina magezi. |
|
| 2 |
|
| Kabaka bw'asunguwala, atiisa ng'empologoma ewuluguma. Amusunguwaza akosa obulamu bwe yekka. |
|
| 3 |
|
| Kya kitiibwa okwewala ennyombo, Naye omusiru yayagala okuyomba. |
|
| 4 |
|
| Omugayaavu atayagala kulima mu nkuba ya ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu. |
|
| 5 |
|
| Omuntu by'alowooza, biri ng'amazzi agali mu luzzi oluwanvu; Omutetenkanya, y'agasenayo. |
|
| 6 |
|
| Abantu bangi abeeyita ab'ekisa; Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba? |
|
| 7 |
|
| Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa. |
|
| 8 |
|
| Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Apima n'azuula ekirungi n'ekibi. |
|
| 9 |
|
| Ani ayinza okwogera nti, “Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu, sirina kibi kyonna?” |
|
| 10 |
|
| Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama. |
|
| 11 |
|
| Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Oba nga mulongoofu, oba nga mulungi. |
|
| 12 |
|
| Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Byombi Mukama ye yabikola. |
|
| 13 |
|
| Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Vvanga mu tulo, ofunenga emmere gy'olya. |
|
| 14 |
|
| “Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa,” bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugula n'alyoka yeewaana. |
|
| 15 |
|
| Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'ogera eby'amagezi kya buyonjo eky'omuwendo omungi. |
|
| 16 |
|
| Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi. |
|
| 17 |
|
| Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu. |
|
| 18 |
|
| Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era lwananga olutalo ng'okulemberwa amagezi. |
|
| 19 |
|
| Abungeesa eŋŋambo, takuuma byama, Kale tomwesemberezanga oyo ali bwatyo. |
|
| 20 |
|
| Akolimira kitaawe oba nnyina, Aliba ng'ettaala ezikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi. |
|
| 21 |
|
| Bw'ofuna by'otosoose kuteganira, Ku nkomerero tebiba na mukisa. |
|
| 22 |
|
| Tewewereranga kuwoolera ggwanga, Olekanga Mukama n'akulwanirira. |
|
| 23 |
|
| Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi. |
|
| 24 |
|
| Mukama yafuga okutambula kw'omuntu; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye? |
|
| 25 |
|
| Kuba kwesuula mu mutego, okwanguyiriza okusuubiza Mukama ekintu; N'olyoka weerowooza ng'omaze okweyama. |
|
| 26 |
|
| Kabaka ow'amagezi azuula abakola obubi, N'ababonereza n'obukambwe. |
|
| 27 |
|
| Omwoyo gw'omuntu ye ttaala ya Mukama, Emulisa byonna eby'omunda. |
|
| 28 |
|
| Ekisa n'amazima biwanirira kabaka; N'okusaasira kwe kunyweza entebe ye. |
|
| 29 |
|
| Ekyenyumirizisa abavubuka, maanyi gaabwe; N'omutwe ogw'envi, bwe bulungi bw'abakadde. |
|
| 30 |
|
| Emiggo egiruma gigolola ow'empisa embi; N'okuswanyulwa, kuggyamu emize. |
|
|
|
|