|
| 1 |
|
| Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa n'aguza gy'ayagala yonna. |
|
| 2 |
|
| Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama y'apima emitima. |
|
| 3 |
|
| Okukola ebituufu n'obwenkanya, Kukkirizibwa Mukama okusinga okumuwa ssaddaaka. |
|
| 4 |
|
| Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ebyo byombi bibi. |
|
| 5 |
|
| Entegeka z'omunyiikivu, zimuviiramu amagoba; Naye oyo alulunkanira ebintu, yeereetako obwavu. |
|
| 6 |
|
| Obugagga obufunibwa mu bulimba, Buyita nga mpewo, ababunoonya banoonya okufa. |
|
| 7 |
|
| Obukambwe bw'ababi bulibamalawo, Kubanga bagaana okukola eby'amazima. |
|
| 8 |
|
| Ekkubo ly'oyo azziza omusango si golokofu; Naye omulongoofu yeeyisa bulungi. |
|
| 9 |
|
| Waakiri okubeera mu kasonda ku nnyumba waggulu, N'otoba na mukazi muyombi, mu nnyumba engazi. |
|
| 10 |
|
| Emmeeme y'omubi yeegomba okukola ebibi, Teyinza kusaasira muntu mulala yenna. |
|
| 11 |
|
| Omunyoomi bw'abonerezebwa: atalina magezi ayiga; Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa yeeyongera okumanya. |
|
| 12 |
|
| Katonda omutuukirivu, amanyi ebiri mu nnyumba y'omubi; Ababi balimeggebwa ne bazikirira. |
|
| 13 |
|
| Aziba amatu ge omwavu ng'akaaba, Naye bwalikaaba, taliwulirwa. |
|
| 14 |
|
| Ekirabo ekiweebwa mu kyama kikkakkanya obusungu, N'okuyiiyiza omuntu ekirabo, kimumalako ekiruyi. |
|
| 15 |
|
| Okukolanga eby'amazima kisanyusa omutuukirivu; Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu. |
|
| 16 |
|
| Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu. |
|
| 17 |
|
| Ayagala amasanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'ebyasava, taligaggawala. |
|
| 18 |
|
| Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe addamu kifo ky'abagolokofu. |
|
| 19 |
|
| Waakiri okubeera, mu nsi ey'eddungu, Okusinga okubeera n'omukazi anyiiganyiiga era omuyombi. |
|
| 20 |
|
| Mu nnyumba y'omuntu ow'amagezi, mubeeramu obugagga obw'omuwendo omungi; Naye omusiru abumalawo byonna. |
|
| 21 |
|
| Agoberera obutuukirivu n'ekisa, alifuna obulamu n'ekitiibwa. |
|
| 22 |
|
| Omulwanyi ow'amagezi awangula ekibuga ky'ab'amaanyi, N'amenya ebisenge byakyo bye beesiga. |
|
| 23 |
|
| Buli eyeegendereza mu by'ayogera, Yeewonya emitawaana. |
|
| 24 |
|
| Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, ayitibwa munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala. |
|
| 25 |
|
| Okwegomba okw'omugayaavu kwe ku mutta; Kubanga tayagala kukola mirimu. |
|
| 26 |
|
| Olunaku lwonna, omubi yeegomba okubaako ky'afuna; Naye omutuukirivu takodowala, agaba. |
|
| 27 |
|
| Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Naddala bwe bagireeta n'ekigendererwa ekitali kirungi, tesinga nnyo okuba ey'omuzizo? |
|
| 28 |
|
| Omujulirwa ow'obulimba alizikirizibwa; Naye omuntu awuliriza by'ayogera bikkirizibwa. |
|
| 29 |
|
| Omuntu omubi yeekazakaza; Naye omugolokofu yeegendereza amakubo. |
|
| 30 |
|
| Tewali magezi na kutegeera, Wadde okuteesa kw'omuntu, ebisinga Mukama. |
|
| 31 |
|
| Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo, Naye okuwangula kuva eri Mukama. |
|
|
|
|