|
| 1 |
|
| Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu. |
|
| 2 |
|
| Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna. |
|
| 3 |
|
| Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa. |
|
| 4 |
|
| Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama. |
|
| 5 |
|
| Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala. |
|
| 6 |
|
| Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu. |
|
| 7 |
|
| Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola. |
|
| 8 |
|
| Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo. |
|
| 9 |
|
| Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye. |
|
| 10 |
|
| Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma. |
|
| 11 |
|
| Ayagala omutima omulongoofu, Olw'ekisa eky'omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe. |
|
| 12 |
|
| Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya, Naye asuula ebigambo eby'omuntu asala enkwe. |
|
| 13 |
|
| Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru: N'attirwa mu nguudo. |
|
| 14 |
|
| Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo. |
|
| 15 |
|
| Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali. |
|
| 16 |
|
| Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi. |
|
| 17 |
|
| Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange. |
|
| 18 |
|
| Kubanga kigambo kya ssanyu bw'obeera nabyo mu nda yo, Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo. |
|
| 19 |
|
| Obwesige bwo bube eri Mukama, Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe. |
|
| 20 |
|
| Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini Eby'okuteesa n'eby'okumanya; |
|
| 21 |
|
| Okukutegeeza ebigambo eby'amazima bwe bitabuusibwabuusibwa, Olyoke obaddize ebigambo eby'amazima abo abakutuma? |
|
| 22 |
|
| Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango: |
|
| 23 |
|
| Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu. |
|
| 24 |
|
| Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi: |
|
| 25 |
|
| Olemenga okuyiga amakubo ge, N'ofunira emmeeme yo ekyambika. |
|
| 26 |
|
| Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja: |
|
| 27 |
|
| Oba nga tolina kya kusasula, Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo? |
|
| 28 |
|
| Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba. |
|
| 29 |
|
| Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso ga bakopi. |
|
|
|
|