|
| 1 |
|
| Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Wetegerezanga nnyo ebyo ebiteekeddwa mu maaso go. |
|
| 2 |
|
| weefugenga nnyo, Bw'oba nga oli muntu muluvu. |
|
| 3 |
|
| Tolulunkaniranga byasava by'agabula; aba ayagala kukugeza alabe bw'ofaanana. |
|
| 4 |
|
| Teweekooyanga ng'okolerera obugagga, Beeranga mugezi olemenga okwetawaanya ennyo. |
|
| 5 |
|
| Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ne bubuuka mu bbanga. |
|
| 6 |
|
| Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So tolulunkaniranga byassava bye. |
|
| 7 |
|
| Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe. |
|
| 8 |
|
| Ojja kusesema gy'olidde; N'ebigambo byo ebirungi bijja ku kufa bwereere. |
|
| 9 |
|
| Toyogeranga omusiru ng'awulira; Kubanga ajja kunyooma eby'amagezi by'oyogera. |
|
| 10 |
|
| Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga nnimiro za bamulekwa. |
|
| 11 |
|
| Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe. |
|
| 12 |
|
| Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya. |
|
| 13 |
|
| Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga okumukubako n'omuggo, tekijja kumutta. |
|
| 14 |
|
| Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe. |
|
| 15 |
|
| Mwana wange, bw'obeera ow'amagezi, nange nsanyuka. |
|
| 16 |
|
| Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Bw'onooyogeranga eby'ensonga. |
|
| 17 |
|
| Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde: |
|
| 18 |
|
| Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo. |
|
| 19 |
|
| Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo. |
|
| 20 |
|
| Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Wadde mu abo abeevuubiika ennyama: |
|
| 21 |
|
| Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu: N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina. |
|
| 22 |
|
| Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye. |
|
| 23 |
|
| Gulanga amazima, so togatundanga; Gulanga amagezi, okuyigirizibwa n'okutegeera. |
|
| 24 |
|
| Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaamwenyumiririzangamu. |
|
| 25 |
|
| Osaanye osanyusenga Kitaawo ne nnyoko, Omukazi eyakuzaala ajaganyenga. |
|
| 26 |
|
| Mwana wange, mpa omutima gwo, Weetegerezenga amakubo gange. |
|
| 27 |
|
| Kubanga omukazi malaaya lukonko luwanvu; N'omukazi omwenzi bunnya bwa kanyigo. |
|
| 28 |
|
| Akuteega ng'omunyazi, Aleetera abasajja bangi obutaba beesigwa. |
|
| 29 |
|
| Ani alaba obuyinike? Ani alaba ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyuse amaaso? |
|
| 30 |
|
| Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge ogwa buli kika. |
|
| 31 |
|
| Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola: |
|
| 32 |
|
| Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa. |
|
| 33 |
|
| Ojja kutandika okulaba ebitategeerekeka, Otandike okwogera ebigambo eby'obubambaavu. |
|
| 34 |
|
| Oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti. |
|
| 35 |
|
| Olitandika okugamba nti, “Bankubye, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Nnaazuukuka ddi, nzireyo ngunoonye nate?” |
|
|
|
|