|
| 1 |
|
| Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga okuba awamu nabo: |
|
| 2 |
|
| Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga, N'emimwa gyabwe gyogera ku ttima. |
|
| 3 |
|
| Amagezi ge gazimbya ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza: |
|
| 4 |
|
| N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa. |
|
| 5 |
|
| Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza. |
|
| 6 |
|
| Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe. |
|
| 7 |
|
| Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru: Tayasama kamwa ke mu mulyango. |
|
| 8 |
|
| Agunja okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima. |
|
| 9 |
|
| Okulowooza kw'omusirusiru kwonoona: Era omunyoomi wa muzizo eri abantu. |
|
| 10 |
|
| Bw'ozirika ku lunaku olw'okulabirako obuyinike, Amaanyi go nga matono. |
|
| 11 |
|
| Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, N'abo abagenda okuttibwa obalekanga. |
|
| 12 |
|
| Bw'onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli? |
|
| 13 |
|
| Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byazo ebiwoomera amatama go. |
|
| 14 |
|
| Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo. |
|
| 15 |
|
| Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu: |
|
| 16 |
|
| Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula. |
|
| 17 |
|
| Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga: |
|
| 18 |
|
| Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'akyusa obusungu bwe okumuvaako. |
|
| 19 |
|
| Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; So tokwatirwanga buggya ababi: |
|
| 20 |
|
| Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettabaaza ey'ababi erizikizibwa. |
|
| 21 |
|
| Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: So teweetabulanga n'abo abaagala okujjululajjulula. |
|
| 22 |
|
| Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi? |
|
| 23 |
|
| Era na bino bigambo bya bagezigezi. Okusosola mu bantu bw'osala emisango si kirungi. |
|
| 24 |
|
| Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu; Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga: |
|
| 25 |
|
| Naye abo abamunenya be baliba n'essaayu, N'omukisa omulungi gulibatuukako. |
|
| 26 |
|
| Addamu eby'ensonga Anywegera emimwa. |
|
| 27 |
|
| Teekateekanga omulimu gwo ebweru, Ogwetegekerenga mu nnimiro; Oluvannyuma n'olyoka ozimba ennyumba yo. |
|
| 28 |
|
| Tolumirizanga munno awatali asonga: So tolimbanga na mimwa gyo. |
|
| 29 |
|
| Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde. |
|
| 30 |
|
| Nayita ku nnimiro ey'omugayaavu, N'olusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera; |
|
| 31 |
|
| Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa. |
|
| 32 |
|
| Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Nalaba ne mpeebwa okuyigirizibwa. |
|
| 33 |
|
| Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono, Okufunya engalo okwebaka kutono: |
|
| 34 |
|
| Bwe kityo obwavu bwo bulituuka ng'omunyazi; N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa. |
|
|
|
|