|
| 1 |
|
| Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru. |
|
| 2 |
|
| Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa. |
|
| 3 |
|
| Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru. |
|
| 4 |
|
| Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana. |
|
| 5 |
|
| Oddangamu omusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okulowooza nti wa magezi. |
|
| 6 |
|
| Atuma omusiru okutwala obubaka, Aba ng'eyeesalako ebigere, era yeereetera mitawaana. |
|
| 7 |
|
| Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu, Kiri ng'omulema okukozesa, Amagulu ge agaleebeeta obuleebeesi. |
|
| 8 |
|
| Ng'ensawo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusiru. |
|
| 9 |
|
| Omusiru okukozesa olugero olw'amakulu, Kiri ng'omutamiivu okugezaako okwetundula eriggwa mu kibatu kye. |
|
| 10 |
|
| Ateekawo omusiru okumukolera omulimu, Oba buli muyise gw'asanze obusanzi, Aba ng'omulasi w'obusaale, alasa buli muntu. |
|
| 11 |
|
| Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe. |
|
| 12 |
|
| Olaba omuntu eyeeyita omugezi mu kulowooza kwe ye? Omusiru amusinga. |
|
| 13 |
|
| Omugayaavu ayogera nti, “Waliwo empologoma mu kkubo, Empologoma eri mu nguudo.” |
|
| 14 |
|
| Ng'oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye. |
|
| 15 |
|
| Omugayaavu akoza emmere mu kibya; Ne kimukooya okugiteeka mu kamwa. |
|
| 16 |
|
| Omugayaavu alowooza nti mugezi okusinga abantu omusanvu, Aboogera batereeza ensonga. |
|
| 17 |
|
| Omuntu ayitawo ne yeeyingiza mu mpaka ezitamukwatako, Aliŋŋaanga akwata ku matu g'embwa gy'atamanyi; |
|
| 18 |
|
| Ali ng'omulalu akasuka amanda agaaka omuliro, Oba obusaale n'ebissi ebirala. |
|
| 19 |
|
| N'oyo omuntu alimba munne, N'agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi,” bw'atyo bw'aba. |
|
| 20 |
|
| Ng'okumalawo enku bwe kuzikiza omuliro, N'omugeyi bw'avaawo, okuyomba kuggwaawo. |
|
| 21 |
|
| Ng'amanda n'enku ebyongerwa mu kyoto, bwe bikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo. |
|
| 22 |
|
| Ebigambo by'ow'olugambo biwooma Ng'emmere ekka mu lubuto. |
|
| 23 |
|
| Ebigambo ebiwoomerevu ebiva mu mutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza. |
|
| 24 |
|
| Omuntu alina obukyayi akuusakuusa mu bigambo bye, Atereka obubi mu mutima gwe. |
|
| 25 |
|
| Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu: |
|
| 26 |
|
| Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina. |
|
| 27 |
|
| Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye. |
|
| 28 |
|
| Omulimba akyawa abo baalimba; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira. |
|
|
|
|