|
| 1 |
|
| Ababi badduka nga tewali muntu abagoba; Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma. |
|
| 2 |
|
| Ensi etegwamu butabanguko ebaamu abafuzi bangi; Naye bwe beeramu abantu abalina okutegeera n'okumanya etebenkera. |
|
| 3 |
|
| Omuntu anyigiriza abaavu, Alinga enkuba esaanyaawo mmere yonna. |
|
| 4 |
|
| Abo abatakwata mateeka bawagira ababi: Naye abo abagakwata babalwanyisa. |
|
| 5 |
|
| Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna. |
|
| 6 |
|
| Omwavu atatambulira mu bukuusa, Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga. |
|
| 7 |
|
| Omwana akwata amateeka wa magezi; Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu aswaza kitaawe. |
|
| 8 |
|
| Eyeegaggawaza ng'aseera afune amagoba, Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu. |
|
| 9 |
|
| Agaana okuwulira amateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo. |
|
| 10 |
|
| Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abaatuukirira balisikira ebirungi. |
|
| 11 |
|
| Omugagga alowooza nti wa magezi; Naye omwavu alina okutegeera amukebera. |
|
| 12 |
|
| Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka. |
|
| 13 |
|
| Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa. |
|
| 14 |
|
| Alina omukisa omuntu atya Mukama mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi. |
|
| 15 |
|
| Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu eryetala okutaagula; Bw'abeera bw'atyo omufuzi omubi afuga abantu abaavu. |
|
| 16 |
|
| Omufuzi atalina kutegeera aba mukambwe nnyo; Naye oyo akyawa obulyake, anaalwanga ku bufuzi. |
|
| 17 |
|
| Omuntu omutemu Asaana kubungeeta okutuusa lwalifa; era walemenga kubaawo muntu amuyamba. |
|
| 18 |
|
| Buli atambulira mu bugolokofu aliwonyezebwa; Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago. |
|
| 19 |
|
| Omulimi omunyiikivu, aliba n'emmere nnyingi; Naye ayita n'abagayaavu, anaabeeranga mwavu. |
|
| 20 |
|
| Omuntu omwesigwa alifuna emikisa; Naye abuguutanira okugaggawala talirema kubonerezebwa. |
|
| 21 |
|
| Okusosola mu bantu si kulungi: Naye abantu bakola ebibi olw'okufuna ke banaalya. |
|
| 22 |
|
| Alina eriiso ebbi abuguutanira okugaggawala, Sso n'atamanya nti obwetaavu bulimutuukako. |
|
| 23 |
|
| Agolola munne ensobi, oluvannyuma aliganja, Okusinga oyo amuwaanawaana. |
|
| 24 |
|
| Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Afaanana n'omutemu. |
|
| 25 |
|
| Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama anaabanga n'omukisa. |
|
| 26 |
|
| Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru Naye atambula n'amagezi y'aliwonyezebwa. |
|
| 27 |
|
| Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye oyo abalaba n'atabafaako, alikolimirwa bangi. |
|
| 28 |
|
| Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera. |
|
|
|
|