|
| 1 |
|
| Omuntu bw'anenyezebwa emirundi emingi n'akakanyalira mu nsobi ye; Alimenyeka nga tamanyiridde nga takyayinza kuwonyezebwa. |
|
| 2 |
|
| Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda. |
|
| 3 |
|
| Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye. |
|
| 4 |
|
| Kabaka anyweza ensi lwa bwenkanya; Naye asaba enguzi agisuula. |
|
| 5 |
|
| Omuntu awaanawaana munne Aba amutega kitimba. |
|
| 6 |
|
| Omuntu omubi, akwatirwa mu nsobi ze; Naye omutuukirivu asanyuka n'ayimba. |
|
| 7 |
|
| Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya. |
|
| 8 |
|
| Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakkakkanya obusungu. |
|
| 9 |
|
| Omuntu ow'amagezi bw'awakana n'omusiru, Omusiru ne bw'asunguwala oba ne bw'aseka, tewaba mirembe. |
|
| 10 |
|
| Abantu abatemu, bakyawa atalina musango; Naye omutuukirivu afuba okutaasa obulamu bwe. |
|
| 11 |
|
| Omusiru alaga obusungu bwe bwonna; Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya. |
|
| 12 |
|
| Omufuzi bw'awuliriza eby'obulimba, Abakungu be bonna baba babi. |
|
| 13 |
|
| Omwavu n'omujoozi balina ekibagatta: Bombi Mukama y'abawa ekitangaala ne balaba. |
|
| 14 |
|
| Kabaka asalira abaavu emisango mu bwenkanya, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna. |
|
| 15 |
|
| Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana alekebwa awo, aswaza nnyina. |
|
| 16 |
|
| Ababi bwe baba mu buyinza, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe. |
|
| 17 |
|
| Kangavvulanga omwana wo, anaakuleeteranga okuwulira essanyu, Weewaawo, anaakweyagazanga. |
|
| 18 |
|
| Awatali kwolesebwa, abantu tebaba na kuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa. |
|
| 19 |
|
| Omuddu takangavvulwa na bigambo bugambo, Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo. |
|
| 20 |
|
| Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusiru wandibaako k'omusuubiramu. |
|
| 21 |
|
| Alera omuddu we nga yeegendereza okuva mu buto, Alimufuukira omwana ku nkomerero. |
|
| 22 |
|
| Omuntu ow'obusungu awakula ennyombo, N'ow'ekiruyi agwa mu nsobi nnyingi. |
|
| 23 |
|
| Amalala g'omuntu galimusuula, Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa. |
|
| 24 |
|
| Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Ne bwawulira ekikolimo, takwekula mazima. |
|
| 25 |
|
| Oyo atya obuti abantu, yeesuula mu kabi; Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe. |
|
| 26 |
|
| Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye obwenkanya buva eri Mukama. |
|
| 27 |
|
| Omuntu omubi akyayibwa abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu akyayibwa ababi. |
|
|
|
|