|
| 1 |
|
| Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange; |
|
| 2 |
|
| Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako. |
|
| 3 |
|
| Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo: |
|
| 4 |
|
| Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu. |
|
| 5 |
|
| Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: |
|
| 6 |
|
| Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. |
|
| 7 |
|
| Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi: |
|
| 8 |
|
| Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo, N'obusomyo eri amagumba go. |
|
| 9 |
|
| Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna: |
|
| 10 |
|
| Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu. |
|
| 11 |
|
| Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama; So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya: |
|
| 12 |
|
| Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira. |
|
| 13 |
|
| Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera. |
|
| 14 |
|
| Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza, N'amagoba gaago gakira zaabu ennungi. |
|
| 15 |
|
| Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago. |
|
| 16 |
|
| Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo; Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n'ekitiibwa. |
|
| 17 |
|
| Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe. |
|
| 18 |
|
| Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago. |
|
| 19 |
|
| Mukama yassaawo emisingi gy'ensi n'amagezi; Yanyweza eggulu n'okutegeera. |
|
| 20 |
|
| Ennyanja yayabika n'okumanya kwe, Eggulu ne litonnya omusulo. |
|
| 21 |
|
| Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go; Kwatanga amagezi amatuufu n'okuteesa; |
|
| 22 |
|
| Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, N'obuyonjo eri obulago bwo. |
|
| 23 |
|
| Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala. |
|
| 24 |
|
| Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga. |
|
| 25 |
|
| Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Newakubadde okuzikiriza okw'ababi bwe kujjanga: |
|
| 26 |
|
| Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa |
|
| 27 |
|
| Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola. |
|
| 28 |
|
| Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe. |
|
| 29 |
|
| Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe |
|
| 30 |
|
| Toyombanga na muntu awatali nsonga, Oba nga taliiko bubi bw'akukoze. |
|
| 31 |
|
| Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna. |
|
| 32 |
|
| Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu. |
|
| 33 |
|
| Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera. |
|
| 34 |
|
| Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaza ekisa. |
|
| 35 |
|
| Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw'abasirusiru. |
|
|
|
|