|
| 1 |
|
| Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza, era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo, |
|
| 2 |
|
| kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulaakulanye. |
|
| 3 |
|
| Amazima n’ekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo. |
|
| 4 |
|
| Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa eri Katonda n’eri abantu. |
|
| 5 |
|
| Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. |
|
| 6 |
|
| Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula. |
|
| 7 |
|
| Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi. |
|
| 8 |
|
| Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo n’amagumba go ne gadda buggya. |
|
| 9 |
|
| Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo, |
|
| 10 |
|
| olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu, era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu. |
|
| 11 |
|
| Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, n’okunenya kwe kulemenga okukukooya, |
|
| 12 |
|
| kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala, nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu. |
|
| 13 |
|
| Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera, |
|
| 14 |
|
| kubanga amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu. |
|
| 15 |
|
| Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago. |
|
| 16 |
|
| Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi; ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa. |
|
| 17 |
|
| Mu magezi mulimu essanyu, era n’amakubo gaago ga mirembe. |
|
| 18 |
|
| Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza; abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa. |
|
| 19 |
|
| Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi; n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu; |
|
| 20 |
|
| n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja, era n’ebire ne bivaamu omusulo. |
|
| 21 |
|
| Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana, ebyo biremenga okukuvaako, |
|
| 22 |
|
| binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo, era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo. |
|
| 23 |
|
| Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo, era ekigere kyo tekijjanga kwesittala. |
|
| 24 |
|
| Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya, weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga. |
|
| 25 |
|
| Totyanga kabenje kootomanyiridde, wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi, |
|
| 26 |
|
| Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego. |
|
| 27 |
|
| Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola. |
|
| 28 |
|
| Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina. |
|
| 29 |
|
| Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo, atudde emirembe ng’akwesiga. |
|
| 30 |
|
| Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga nga talina kabi k’akukoze. |
|
| 31 |
|
| Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala, era tokolanga nga ye bw’akola, |
|
| 32 |
|
| kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama, naye abo abagolokofu abalinamu obwesige. |
|
| 33 |
|
| Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi, naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu. |
|
| 34 |
|
| Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi, naye abeetoowaza abawa ekisa. |
|
| 35 |
|
| Ab’amagezi balisikira ekitiibwa, naye abasirusiru baliswazibwa. |
|
|
|
|