|
| 1 |
|
| Mwana wange, teweerabiranga bye nkuyigiriza, Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange. |
|
| 2 |
|
| Kubanga oliwangaala emyaka mingi, N'obeeranga mu bulamu obw'emirembe. |
|
| 3 |
|
| Tosulanga bwesigwa n'amazima. Bisibenga mu bulago bwo, Biwandiikenga munda mu mutima gwo. |
|
| 4 |
|
| Bw'otyo bw'onoofunanga okuganja n'okusiimibwa, Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu. |
|
| 5 |
|
| Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe. |
|
| 6 |
|
| Mwatulenga mu makubo go gonna, Naye anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. |
|
| 7 |
|
| Teweefuulanga mugezi mu maaso go ggwe, Tyanga Mukama, era ovenga mu bubi. |
|
| 8 |
|
| Ekyo kye kinaabanga eddagala eriwonya ebiwundu byo, Era erikkakkanya okuluma kw'amagumba go. |
|
| 9 |
|
| Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna. |
|
| 10 |
|
| Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu. |
|
| 11 |
|
| Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama, So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya. |
|
| 12 |
|
| Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we gw'ayagala. |
|
| 13 |
|
| Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera. |
|
| 14 |
|
| Kubanga ga muwendo okusinga ffeeza N'amagoba gaago gasinga zaabu ennungi. |
|
| 15 |
|
| Ga muwendo mungi okusinga amayinja ag'omuwendo. Era tewali kintu ky'oyinza okwegomba okugeraageranya nago. |
|
| 16 |
|
| Amagezi gakuwangaaza, ne gakuwa obugagga n'ekitiibwa. |
|
| 17 |
|
| Amagezi gakuwa obulamu obweyagaza, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe. |
|
| 18 |
|
| Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago. |
|
| 19 |
|
| Mukama mu magezi mwe yatondera ensi, mu kutegeera mwe yassizzaawo eggulu. |
|
| 20 |
|
| Mu kumanya kwe amazzi gafubutuka okuva wansi, Ne bire ne bitonya enkuba. |
|
| 21 |
|
| Mwana wange, weekwatenga amagezi amatuufu, N'okusalawo okulungi, |
|
| 22 |
|
| Ebyo birikuwa obulamu, N'ebirongoosa embeera zo. |
|
| 23 |
|
| Olwo olitambula mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala. |
|
| 24 |
|
| Bw'onoogalamiranga okwebaka tootyenga, Oneebakanga otulo ne tukuwoomera. |
|
| 25 |
|
| Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Wadde okuzikirira kw'ababi bwe kujjanga. |
|
| 26 |
|
| Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa. |
|
| 27 |
|
| Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kibanga mu buyinza bwo okukikola. |
|
| 28 |
|
| Togambanga muliraanwa wo nti, “ Genda okomewo, Nakuwa enkya,” Bw'obanga eky'okumuwa okirina. |
|
| 29 |
|
| Totegekanga kukola munno kabi, Ng'ali naawe mirembe. |
|
| 30 |
|
| Toyombanga na muntu awatali nsonga, Nga taliiko kabi k'akukoze. |
|
| 31 |
|
| Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, Era tosalangawo kukola nga ye by'akola, |
|
| 32 |
|
| Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye abalongoofu abamanyisa ekyama kye. |
|
| 33 |
|
| Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera. |
|
| 34 |
|
| Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaze ekisa. |
|
| 35 |
|
| Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye abasiru balifuna okuswazibwa. |
|
|
|
|