|
| 1 |
|
| Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Mutegenga amatu okumanya okutegeera: |
|
| 2 |
|
| Kubanga mbawa okuyiga okulungi; Temuvanga mu tteka lyange. |
|
| 3 |
|
| Kubanga nali mwana eri kitange, Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange. |
|
| 4 |
|
| Era yanjigirizanga n'aŋŋamba nti Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu: |
|
| 5 |
|
| Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby'omu kamwa kange: |
|
| 6 |
|
| Togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulindanga. |
|
| 7 |
|
| Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi: Weewaawo funanga okutegeera n'ebyo byonna bye wafunanga. |
|
| 8 |
|
| Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga. |
|
| 9 |
|
| Galiwa omutwe gwo engule ey'obuyonjo: Galikugabira enkuufiira ey'obulungi. |
|
| 10 |
|
| Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi. |
|
| 11 |
|
| Naakuyigiriza ekkubo ery'amagezi; Naakuluŋŋamya mu makubo ag'obugolokofu. |
|
| 12 |
|
| Bw'onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga; Era bw'onoddukanga teweesittalenga. |
|
| 13 |
|
| Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo. |
|
| 14 |
|
| Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi. |
|
| 15 |
|
| Olwesambanga, toluyitangako; Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso. |
|
| 16 |
|
| Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi; N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza. |
|
| 17 |
|
| Kubanga balya emmere ey'obubi, Ne banywa omwenge ogw'okugira ekyejo. |
|
| 18 |
|
| Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira. |
|
| 19 |
|
| Ekkubo ery'ababi liriŋŋanga ekizikiza: Tebamanyi ekibeesittaza. |
|
| 20 |
|
| Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Teganga okutu eri okwogera kwange. |
|
| 21 |
|
| Tebivanga ku maaso go; Bikuumirenga wakati mu mutima gwo. |
|
| 22 |
|
| Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna. |
|
| 23 |
|
| Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu. |
|
| 24 |
|
| Weggyengako akamwa akabambaavu, N'emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo. |
|
| 25 |
|
| Amaaso go galuŋŋamirenga ddala, N'ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo. |
|
| 26 |
|
| Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga. |
|
| 27 |
|
| Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi. |
|
|
|
|