|
| 1 |
|
| Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe, era musseeyo omwoyo mufune okutegeera. |
|
| 2 |
|
| Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi; temulekanga biragiro byange. |
|
| 3 |
|
| Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange, omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange, |
|
| 4 |
|
| yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo, kuuma ebiragiro byange obeere mulamu. |
|
| 5 |
|
| Funa amagezi; funa okutegeera, teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange. |
|
| 6 |
|
| Togalekanga, nago ganaakukuumanga, gaagale nago ganaakulabiriranga. |
|
| 7 |
|
| Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera. |
|
| 8 |
|
| Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa, gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa. |
|
| 9 |
|
| Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa, era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.” |
|
| 10 |
|
| Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi. |
|
| 11 |
|
| Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi, ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu. |
|
| 12 |
|
| Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa; era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala. |
|
| 13 |
|
| Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga: kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo. |
|
| 14 |
|
| Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi, wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi. |
|
| 15 |
|
| Lyewalenga, tolitambulirangamu, liveeko okwate ekkubo lyo. |
|
| 16 |
|
| Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi, era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe. |
|
| 17 |
|
| Okukola ebibi y’emmere yaabwe, n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe. |
|
| 18 |
|
| Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala. |
|
| 19 |
|
| Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte, tebamanyi kibaleetera kwesittala. |
|
| 20 |
|
| Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza; |
|
| 21 |
|
| ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo, |
|
| 22 |
|
| kubanga bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna. |
|
| 23 |
|
| Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo. |
|
| 24 |
|
| Weewalire ddala eby’obubambavu era n’okwogera ebya swakaba. |
|
| 25 |
|
| Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga. |
|
| 26 |
|
| Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka. |
|
| 27 |
|
| Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu. |
|
|
|
|