|
| 1 |
|
| Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange, era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi, |
|
| 2 |
|
| olyoke oyige okusalawo okw’amagezi, era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu. |
|
| 3 |
|
| Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki, n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo; |
|
| 4 |
|
| naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri. |
|
| 5 |
|
| Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe. |
|
| 6 |
|
| Tafaayo ku kkubo lya bulamu, amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi. |
|
| 7 |
|
| Kaakano, batabani bange mumpulirize, temuvanga ku bigambo bya kamwa kange. |
|
| 8 |
|
| Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye; |
|
| 9 |
|
| si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima, |
|
| 10 |
|
| ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza, n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala. |
|
| 11 |
|
| Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda, ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo. |
|
| 12 |
|
| Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa, n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa, |
|
| 13 |
|
| era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi. |
|
| 14 |
|
| Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.” |
|
| 15 |
|
| Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga. |
|
| 16 |
|
| Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga? |
|
| 17 |
|
| Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu. |
|
| 18 |
|
| Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa, era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo. |
|
| 19 |
|
| Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe. |
|
| 20 |
|
| Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala? |
|
| 21 |
|
| Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna, era n’akebera n’amakubo ge gonna. |
|
| 22 |
|
| Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego, era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala. |
|
| 23 |
|
| Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi. |
|
|
|
|