|
| 1 |
|
| Mwana wange, ssangayo omwoyo, owulirize amagezi gange, Otegeere okumanya kwange. |
|
| 2 |
|
| Olyoke omanyenga okusalawo okw'amagezi, Era olyoke oyogerenga eby'amagezi. |
|
| 3 |
|
| Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu: |
|
| 4 |
|
| Naye kunkomerero akaawa ng'omususa, Asala ng'ekitala eky'obwogi obubiri. |
|
| 5 |
|
| Ebigere bye bikka mu kufa; Ekkubo lye likkirira magombe. |
|
| 6 |
|
| N'okulaba talaba kkubo lya bulamu, Amakubo ge geetooloola nga tamanyi. |
|
| 7 |
|
| Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo bye mbagamba. |
|
| 8 |
|
| Omukazi ng'oyo omwewalanga, N'oluggi lw'ennyumba ye tolusembereranga. |
|
| 9 |
|
| Bw'otomwewala, abalala balitwala ekitiibwa kyo, N'ottibwa abakambwe ng'okyali muvubuka. |
|
| 10 |
|
| Abagwira baleme okutwala by'okoleredde, Bye watuyanira bireme okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga; |
|
| 11 |
|
| Ku nkomerero yo n'ofa ng'onakuwadde, Ng'okozze wenna, ng'okenenye. |
|
| 12 |
|
| Olyejjusa lwaki wakyawanga okubuulirirwa, Omutima gwo ne gunyoomanga okunenyezebwa. |
|
| 13 |
|
| Oligamba nti ssaawulirizanga bayigiriza bange, Sassangayo mwoyo ku bye banjigirizanga. |
|
| 14 |
|
| Nabulako katono okuswala, Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina. |
|
| 15 |
|
| Beeranga mwesigwa eri mukyala wo, Era gwewegattanga naye yekka. |
|
| 16 |
|
| Lwaki ensulo zo zisaasaanira wonna, Amazzi ne gakulukutira mu nguudo? |
|
| 17 |
|
| Amazzi ag'omu luzzi olwo gabeereranga ddala gago wekka, So si ga balala wamu naawe. |
|
| 18 |
|
| Ensulo yo ebeerenga n'omukisa, Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo. |
|
| 19 |
|
| omulungi ng'ennangaazi, omubalagavu ng'empeewo, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe. |
|
| 20 |
|
| Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omwenzi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo? |
|
| 21 |
|
| Kubanga omuntu byonna by'akola biri mu maaso ga Mukama, Era Mukama atunulira nnyo eŋŋendo ze zonna. |
|
| 22 |
|
| Ebibi by'omuntu bimusiba, Okwonoona kwe gy'emigwa egimusiba. |
|
| 23 |
|
| Alifa olw'obuteeziyiza, Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba. |
|
|
|
|