|
| 1 |
|
| Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'omuteerawo akabega, |
|
| 2 |
|
| Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze. |
|
| 3 |
|
| Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze weetayirire muliraanwa wo. |
|
| 4 |
|
| Toganyanga maaso go kwebaka, Newakubadde ebikkowe byo okubongoota. |
|
| 5 |
|
| Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi, Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi. |
|
| 6 |
|
| Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu; Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi: |
|
| 7 |
|
| Eyo terina mwami, Newakubadde omulabirizi, newakubadde omufuzi, |
|
| 8 |
|
| Naye ne yeeterekera eby'okulya byayo mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka. |
|
| 9 |
|
| Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu? Olizuukuka ddi mu tulo two? |
|
| 10 |
|
| Ogamba nti, “ Ka ngira neebakamu katono.” Olwo ng'ofunya emikono nga weebaka! |
|
| 11 |
|
| Bwe butyo obwavu bulikujjira ng'omunyazi, N'ebyetaago byo bikuzinde ng'omutemu azze n'ebissi. |
|
| 12 |
|
| Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja omubi, Atambula ng'abungeesa eŋŋambo. |
|
| 13 |
|
| Atemya amaaso, aseesa bigere bye, Awenya n'engalo ze; |
|
| 14 |
|
| Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata; Asiga okukyawagana. |
|
| 15 |
|
| Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde; Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa. |
|
| 16 |
|
| Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa; Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali: |
|
| 17 |
|
| Entunula ey'amalala, olulimi olulimba, Emikono egitta abataliiko musango; |
|
| 18 |
|
| Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, Ebigere ebyanguwa okukola ebibi; |
|
| 19 |
|
| Omujulizi awa obujulizi obw'obulimba, N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda. |
|
| 20 |
|
| Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga nnyoko by'akuyigiriza. |
|
| 21 |
|
| Bikuumenga ennaku zonna mu mutima gwo, Obyesibenga mu bulago bwo. |
|
| 22 |
|
| Bw'onootambulanga, binaakuluŋŋamyanga, Bw'oneebakanga, binaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, binaayogeranga naawe. |
|
| 23 |
|
| Kubanga etteeka ttaala, okuyigiriza, musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu: |
|
| 24 |
|
| Okukukuumanga eri omukazi omubi, N'eri ebigambo ebisikiriza eby'omukazi omwenzi. |
|
| 25 |
|
| Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo, Era n'ebisige by'amaaso ge biremenga okukusikiriza. |
|
| 26 |
|
| Omukazi malaaya, yeetunda olw'emmere obumere: Naye omukazi muk'omusajja, aleetera obulamu bwo okuzikirira. |
|
| 27 |
|
| Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya? |
|
| 28 |
|
| Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira? |
|
| 29 |
|
| Bw'atyo bw'abeera eyeegatta ne muka munne: Buli akola ekyo, talirema kubonerezebwa. |
|
| 30 |
|
| Abantu tebanyooma mubbi abbye, Ng'alumwa enjala? |
|
| 31 |
|
| Era bwe bamukwata aliwa emirundi musanvu. Awaayo ebintu byonna ebyo mu nnyumba ye. |
|
| 32 |
|
| Ayenda ku muk'omusajja talina kutegeera: Akola bwatyo azikiriza obulamu bwe yennyini. |
|
| 33 |
|
| Alinyoomebwa era alifuna ebiwundu, N'okuswala kwe tekulikoma. |
|
| 34 |
|
| Kubanga obuggya butaamuusa omusajja nnyini mukazi, So talisaasira ku lunaku olw'okuwoolera eggwanga. |
|
| 35 |
|
| Talikkiriza kiweebwayo kyonna okwenunula. So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi. |
|
|
|
|