|
| 1 |
|
| Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Oterekanga ebiragiro byange ewuwo. |
|
| 2 |
|
| Okwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu; N'etteeka lyange ng'emmunye ey'eriiso lyo. |
|
| 3 |
|
| Bisibenga ku mukono gwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo. |
|
| 4 |
|
| Gambanga amagezi nti Ggwe mwannyinaze; Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe: |
|
| 5 |
|
| Bikukuumenga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye. |
|
| 6 |
|
| Kubanga nalingiza mu ddirisa ery'ennyumba yange Mu mulimu omuluke ogw'omu ddirisa; |
|
| 7 |
|
| Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Omuvubuka atalina kutegeera, |
|
| 8 |
|
| Ng'ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro gwe, N'agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye; |
|
| 9 |
|
| Mu kizikiza, obudde nga buwungedde; Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi. |
|
| 10 |
|
| Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya. |
|
| 11 |
|
| Muyombi era mukakanyavu; Ebigere bye tebibeera mu nnyumba ye: |
|
| 12 |
|
| Oluusi aba mu nguudo, oluusi mu bifo ebigazi, Era ateegera ku buli mugguukiriro. |
|
| 13 |
|
| Awo n'amukwata n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti |
|
| 14 |
|
| Ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe ziri wange; Leero mmaze okusasula obweyamo bwange. |
|
| 15 |
|
| Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, Okunyiikira okunoonya amaaso go, era nkulabye. |
|
| 16 |
|
| Njaze ekitanda kyange n'amagodooli, N'engoye ez'amakuubo eza ppamba w’e Misiri. |
|
| 17 |
|
| Mpunyisizza bulungi ekiriri kyange N'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa. |
|
| 18 |
|
| Jjangu tukkute okwagala okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala. |
|
| 19 |
|
| Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala: |
|
| 20 |
|
| Yagenda ng'atwala ensawo eya ffeeza; Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo. |
|
| 21 |
|
| Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda n'okwegonza okw'emimwa gye. |
|
| 22 |
|
| Amangu ago agenda amugobeberera, Ng'ente bw'egenda okusalibwa, Oba ng'amasamba bwe gagenda okukangavvula omusirusiru; |
|
| 23 |
|
| Okutuusa akasaale lwe kalifumita ekibumba kye; Ng'ennyonyi bw'eyanguwa okugwa mu kyambika, So tamanyi ng'alifiirwa obulamu bwe. |
|
| 24 |
|
| Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo eby'omu kamwa kange. |
|
| 25 |
|
| Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze. |
|
| 26 |
|
| Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene. |
|
| 27 |
|
| Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe. Nga likka mu bisenge eby'okufa. |
|
|
|
|