|
| 1 |
|
| Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Teweerabiranga biragiro byange. |
|
| 2 |
|
| Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu. Kuumanga bye nkuyigiriza ng'emmunye ey'eriiso lyo. |
|
| 3 |
|
| Bisibenga ku mukono gwo, Biwandiikenga mu mutima gwo. |
|
| 4 |
|
| Gambanga amagezi nti, “Ggwe mwannyinaze,” Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe. |
|
| 5 |
|
| Birikukuuma eri omukazi muk'omusajja, N'eri buli mukazi asikiriza n'ebigambo bye ebiwoomerevu. |
|
| 6 |
|
| Kubanga lumu nnalingiza, Mu ddirisa ery'omu nnyumba yange, |
|
| 7 |
|
| Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Mwe nalabira omuvubuka atalina kutegeera. |
|
| 8 |
|
| Yali atambula mu luguudo n'atuuka mu kakoona akaali okumpi n'ennyumba y'omwenzi, N'akwata ekkubo eridda mu nnyumba y'omwenzi. |
|
| 9 |
|
| Bwali obudde nga buwungedde, Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi. |
|
| 10 |
|
| Omukazi n'amusisinkana, Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya. |
|
| 11 |
|
| Muyombi era mukakanyavu; Nga tatereera waka, |
|
| 12 |
|
| Oluusi ateegera mu nguudo, oluusi mu bifo ebyalukale, Era ateegera ku buli mugguukiriro. |
|
| 13 |
|
| Awo n'agwa omuvubuka mu kifuba, n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti: |
|
| 14 |
|
| “Mpaddeyo ssaddaaka, Leero mmaze okusasula obweyamo bwange. |
|
| 15 |
|
| Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, nfubye okukunoonya era nkulabye. |
|
| 16 |
|
| Obuliri bwange maze okubwala, N'essuuka ez'ebikuubo eza ppamba w'e Misiri. |
|
| 17 |
|
| Obuliri mbutaddemu ebyakawoowo, Eby'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa ebirala. |
|
| 18 |
|
| Jjangu tusule ffembi okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala. |
|
| 19 |
|
| Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala: |
|
| 20 |
|
| Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo. Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.” |
|
| 21 |
|
| Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda naye olw'ebigambo bye ebiwoomerevu. |
|
| 22 |
|
| Amangu ago amugoberera, Ng'ente gye batwala okusala, Oba ng'ensolo egwa mu mutego. |
|
| 23 |
|
| Mw'eneefumitirwa akasaale efe. Yali ng'ekinyonyi ekyanguwa okugwa mu kitimba. Yali tamanyi nti afiirwa obulamu bwe. |
|
| 24 |
|
| Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo bye mbagamba. |
|
| 25 |
|
| Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze. |
|
| 26 |
|
| Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Abafiiridde ewuwe tobabala n'obamalayo. |
|
| 27 |
|
| Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe Kuba kusemberera kufa. |
|
|
|
|