|
| 1 |
|
| Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo? |
|
| 2 |
|
| Enguudo we zisibuka mu kkubo Mu masaŋŋanzira we gayimirira; |
|
| 3 |
|
| Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu: |
|
| 4 |
|
| Mmwe abasajja, mbakoowoola; N'eddoboozi lyange liri eri abaana b'abantu. |
|
| 5 |
|
| Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba; Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera. |
|
| 6 |
|
| Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga. |
|
| 7 |
|
| Kubanga akamwa kange kanaayogera eby'amazima; N'obubi bwa muzizo eri emimwa gyange. |
|
| 8 |
|
| Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde. |
|
| 9 |
|
| Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya. |
|
| 10 |
|
| Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza; N'okumanya okukira zaabu ennonde. |
|
| 11 |
|
| Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago. |
|
| 12 |
|
| Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange Era nnoonya okumanya n'okuteesa. |
|
| 13 |
|
| Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa. |
|
| 14 |
|
| Okuteesa kwange n'okumanya okutuufu: Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi. |
|
| 15 |
|
| Ku bwange bakabaka bafuga, Abalangira ne bateeka eby'obutuukiruvu. |
|
| 16 |
|
| Ku bwange abalangira bafuga, N'abakungu, abalamuzi bonna ab'oku nsi: |
|
| 17 |
|
| Njagala abo abanjagala; N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba. |
|
| 18 |
|
| Obugagga n’ekitiibwa biri nange; Wewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu. |
|
| 19 |
|
| Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi; N'amagoba gange gakira ffeeza ennonde. |
|
| 20 |
|
| Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, Wakati mu mpenda ez'okusala emisango: |
|
| 21 |
|
| Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu, Era njijuze amawanika gaabwe. |
|
| 22 |
|
| Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, Okusooka emirimu gye egy'edda. |
|
| 23 |
|
| Nateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo. |
|
| 24 |
|
| Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa; Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo. |
|
| 25 |
|
| Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, Nasooka obusozi okuzaalibwa: |
|
| 26 |
|
| Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Newakubadde enfuufu ey'ensi eyasooka. |
|
| 27 |
|
| Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo: Bwe yakulunga amaaso g'obuziba: |
|
| 28 |
|
| Bwe yanyweza eggulu waggulu: Ensulo ez'ennyanja bwe zaafuuka ez'amaanyi: omubi yeetonnyezaako ebbala. |
|
| 29 |
|
| Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye: Bwe yalamba emisingi gy'ensi: |
|
| 30 |
|
| Kale nze nga ndi awo gy'ali ng'omukoza: Era bulijjo yansanyukiranga, Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge; |
|
| 31 |
|
| Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; N'essanyu lyange lyali n'abaana b'abantu. |
|
| 32 |
|
| Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange. |
|
| 33 |
|
| Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga. |
|
| 34 |
|
| Alina omukisa omuntu ampulira, Ng'atunuulira bulijjo ku nzigi zange, Ng'alinda awali emifuubeeto gy'enzigi zange. |
|
| 35 |
|
| Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama. |
|
| 36 |
|
| Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa. |
|
|
|
|