|
| 1 |
|
| Amagezi tegakoowoolera waggulu, n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo? |
|
| 2 |
|
| Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo, mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera, |
|
| 3 |
|
| ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga, ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti, |
|
| 4 |
|
| Mmwe abantu, mmwe b’empita; nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi. |
|
| 5 |
|
| Mmwe abatategeera mufune okutegeera; nammwe abasirusiru mufune amagezi. |
|
| 6 |
|
| Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba, era mu kamwa kange muvaamu ebituufu. |
|
| 7 |
|
| Akamwa kange koogera bituufu byereere; kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu. |
|
| 8 |
|
| Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa. |
|
| 9 |
|
| Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera, era tebirina kabi eri oyo alina amagezi. |
|
| 10 |
|
| Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange, era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi, |
|
| 11 |
|
| kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi, era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago. |
|
| 12 |
|
| Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi, era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi. |
|
| 13 |
|
| Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala n’okwemanya, n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu. |
|
| 14 |
|
| Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange; ntegeera era ndi wa buyinza. |
|
| 15 |
|
| Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga, abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya. |
|
| 16 |
|
| Abalangira bafuga ku bwange, n’abakungu bonna abafuga ku nsi. |
|
| 17 |
|
| Njagala abo abanjagala, n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba. |
|
| 18 |
|
| Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma n’okukulaakulana. |
|
| 19 |
|
| Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose, n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi. |
|
| 20 |
|
| Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu, mu kkubo ery’obwenkanya, |
|
| 21 |
|
| n’abo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe. |
|
| 22 |
|
| Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala ky’akola. |
|
| 23 |
|
| Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ng’ensi tennabaawo. |
|
| 24 |
|
| Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo, nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo, |
|
| 25 |
|
| ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo, nga n’obusozi tebunnabaawo; |
|
| 26 |
|
| nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo, wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi. |
|
| 27 |
|
| Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo, ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba, |
|
| 28 |
|
| ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga, n’anywereza ddala ensulo z’amazzi, |
|
| 29 |
|
| bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma, amazzi galeme kusukka we yagalagira, ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi. |
|
| 30 |
|
| Nnali naye ng’omukozi omukugu, nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku, nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo, |
|
| 31 |
|
| nga nsanyukira mu nsi ye yonna, era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu. |
|
| 32 |
|
| Kale nno, batabani bange mumpulirize; balina omukisa abo abakwata amakubo gange! |
|
| 33 |
|
| Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi, so temugalekanga. |
|
| 34 |
|
| Alina omukisa omuntu ampuliriza, alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange buli lunaku. |
|
| 35 |
|
| Kubanga buli andaba afuna obulamu, era afuna okuganja eri Mukama. |
|
| 36 |
|
| Oyo atannoonya yeerumya yekka, era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa. |
|
|
|
|