|
| 1 |
|
| Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleekaana okuwulirwa? |
|
| 2 |
|
| Ku butunnumba okumpi n'ekkubo, Mu masaŋŋanzira g'enguudo. |
|
| 3 |
|
| Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Galeekaanira ku nzigi abantu we bayingirira. |
|
| 4 |
|
| “Mmwe abantu, mbakoowoola, Mbayita mwenna abaana b'abantu. |
|
| 5 |
|
| Mmwe abatalina magezi, muyige okwegendereza. Nammwe abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera. |
|
| 6 |
|
| Muwulire, kubanga njogera ebigambo ebirungi ennyo. Byonna bye njogera bya nsonga. |
|
| 7 |
|
| Kubanga bye njogera bya mazima, Soogera bya bulimba nakatono. |
|
| 8 |
|
| Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kikyamu wadde ekikyukakyuka. |
|
| 9 |
|
| Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri oyo ayagala okumanya. |
|
| 10 |
|
| Mwagale bye njigiriza okusinga ffeeza, Era mwagale okumanya okusinga zaabu ow'omuwendo. |
|
| 11 |
|
| Kubanga amagezi gasinga amayinja ag'omuwendo, Tewali na kintu kyegombebwa ky'oyinza okugeraageranya nago. |
|
| 12 |
|
| Nze magezi, nsangibwa mu bwegendereza. Era nnoonya okumanya n'okuteesa. |
|
| 13 |
|
| Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Nkyawa amalala n'okwepanka, N'okwogera eby'obulimba. |
|
| 14 |
|
| Mbuulirira era nnina amagezi amatuufu. Nnina okutegeera, nnina amaanyi. |
|
| 15 |
|
| Nnyamba bakabaka okufuga, N'abafuzi okulagira eby'obwenkanya. |
|
| 16 |
|
| Nnyamba abalangira okufuga, N'abakungu, n'abalamuzi bonna ab'oku nsi. |
|
| 17 |
|
| Njagala abo abanjagala; N'abo abanyiikira okunnoonya balindaba. |
|
| 18 |
|
| Obugagga n'ekitiibwa biri nange; Obugagga obutuufu era obw'enkalakkalira. |
|
| 19 |
|
| Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, Zaabu ow'omuwendo, N'amagoba gange gasinga ffeeza omuyooyoote. |
|
| 20 |
|
| Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, N'ekkubo ery'obwenkanya. |
|
| 21 |
|
| Abanjagala mbawa obugagga, Ne njijuza amawanika gaabwe. |
|
| 22 |
|
| Mukama yantonda ku ntandikwa ye mirimu gye, Omubereberye w'omulimu gwe ogw'edda. |
|
| 23 |
|
| Nnateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo. |
|
| 24 |
|
| Najja tewannabaawo nnyanja, wadde ensulo ezireeta amazzi. |
|
| 25 |
|
| Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, N'obusozi nze nnabusookawo. |
|
| 26 |
|
| Katonda yali tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Wadde enfuufu embereberye ey'ensi. |
|
| 27 |
|
| Bwe yali abamba eggulu, nnaliwo, Bwe yali assaawo enkulungo mu buziba bwe nnyanja. |
|
| 28 |
|
| Bwe yawanika ebire mu bbanga, N'assaawo ensulo ez'ennyanja. |
|
| 29 |
|
| Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okubuuka ensalo zaayo, Bwe yalamba emisingi gy'ensi: |
|
| 30 |
|
| Kale nze nnamuli ku lusegere ng'omukoza. Era bulijjo yansanyukiranga, Nga ndigitira waali. |
|
| 31 |
|
| Nga nsanyukira ensi ye n'ebigirimu, N'essanyu lyange kwe kubeera n'abaana b'abantu. |
|
| 32 |
|
| Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata bye mbagamba. |
|
| 33 |
|
| Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n'amagezi, So temugagaananga. |
|
| 34 |
|
| Alina omukisa omuntu ampulira, Abeera ku luggi lwange bulijjo, Ng'alindirira ku mulyango gw'enju yange, |
|
| 35 |
|
| Kubanga buli anzuula aba azudde obulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama. |
|
| 36 |
|
| Naye oyo alemwa okunzuula, yeerumya yekka. Bonna abankyawa, baba baagala kufa.” |
|
|
|
|