Luganda Bible
|
| 1 |
| Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gatemye empagi zaago musanvu: |
| 2 |
| Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese emmeeza yaago. |
| 3 |
| Gasindise abawala baago, googerera waggulu. Ku bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu, |
| 4 |
| Nti Buli atalina magezi akyamire muno: Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti |
| 5 |
| Mujje mulye ku mmere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabudde. |
| 6 |
| Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu; Era mutambulirenga mu kkubo ery'okutegeera. |
| 7 |
| Anenya omukudaazi yeeswaza: N'oyo abuulirira omubi yeetonnyezaako ebbala. |
| 8 |
| Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa: Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga. |
| 9 |
| Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi: Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyita. |
| 10 |
| Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera. |
| 11 |
| Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa. |
| 12 |
| Oba nga olina amagezi, weebeera n’amagezi wekka: Era bw’onoonyoomanga, kuliba ku ggwe wekka. |
| 13 |
| Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi. |
| 14 |
| Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu, |
| 15 |
| Okuyita abo abayitawo, Abakwatira ddala amakubo gaabwe, |
| 16 |
| Nti Buli atalina magezi akyamire muno: N'oyo abulwa okutegeera amugamba nti |
| 17 |
| Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu kyama ye esanyusa. |
| 18 |
| Naye tamanyi ng'abafu bali eyo: Ng'abagenyi be bali mu buziba bw'emagombe. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/proverbs/009.mp3
31
9