Luganda Bible
|
| 1 |
| Suulanga emmere yo ku mazzi: kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo. |
| 2 |
| Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi. |
| 3 |
| Ebire bwe bijjula enkuba, ne biyiika ku nsi: n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiika obwa ddyo oba obwa kkono, mu kifo omuti mwe gugwa we gulibeera. |
| 4 |
| Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula. |
| 5 |
| Nga bw’otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna. |
| 6 |
| Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi. |
| 7 |
| Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba. |
| 8 |
| Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu. |
| 9 |
| Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna. |
| 10 |
| Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo: kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/ecclesiastes/011.mp3
12
11