×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Omubuulizi 11

1
Suulanga emmere yo ku mazzi; kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo.
2
Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi.
3
Ebire bwe bijjula enkuba, olwo neyiika ku nsi; n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiikaddyo oba obukiikakkono, mu kifo omuti we gugwa we gulibeera.
4
Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula.
5
Nga bw'otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.
6
Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo; kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.
7
Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba.
8
Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.
9
Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go; naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.
10
Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo; kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes