Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti, “Sigisanyukira n'akamu.”
Ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa,
enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa.
Weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n'ejjanzi lirizitowa, ne ppirippiri aliggwaawo; kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo.
Omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi, ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;
Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.