|
| 1 |
|
| Buli kintu kiriko entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w'eggulu kiriko ekiseera kyakyo: |
|
| 2 |
|
| ekiseera eky'okuzaalirwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu, n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekyo ekyasimbibwa; |
|
| 3 |
|
| ekiseera eky'okuttiramu, n'ekiseera eky'okuwonyezaamu; ekiseera eky'okwabizaamu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu; |
|
| 4 |
|
| ekiseera eky'okukaabiramu amaziga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okuwuubaaliramu, n'ekiseera eky'okuziniramu; |
|
| 5 |
|
| ekiseera eky'okusuuliramu amayinja, n'ekiseera eky'okukugnaanyizaamu amayinja; ekiseera eky'okugwiramu mu kifuba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifuba; |
|
| 6 |
|
| ekiseera eky'okunoonyezaamu, n'ekiseera eky'okubulirwamu; ekiseera eky'okukuumiramu, n'ekiseera eky'okusuuliramu; |
|
| 7 |
|
| ekiseera eky'okuyulizaamu, n'eluseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okwogereramu; |
|
| 8 |
|
| ekiseera eky'okwagaliramu, n'ekiseera eky'okukyayiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu. |
|
| 9 |
|
| Magoba ki gaafuna oyo akola emirimu mu ekyo mw'ateganira? |
|
| 10 |
|
| Nalaba okutegana Katonda kwe yawa abaana b'abantu okubateganya. |
|
| 11 |
|
| Yafuula buli kintu okuba ekirungi mu kiseera kyakyo: era yateeka ensi mu mutima gwabwe, naye agiteekamu bw'atyo omuntu n'okuyinza n'atayinza kukebera mulimu Katonda gwe yakola okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero. |
|
| 12 |
|
| Mmanyi nga tewali kintu kibagasa okusinga okusanyuka n'okukola obulungi ennaku zonna nga bakyali balamu. |
|
| 13 |
|
| Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna, kye kirabo kya Katonda. |
|
| 14 |
|
| Mmanyi nga buli Katonda ky'akola kinaabanga kya lubeerera; tewali kintu kiyinzika okukyongerwako, newakubadde okukisalibwako: era Katonda kyeyava akikola abantu balyoke batye mu maaso ge. |
|
| 15 |
|
| Ekiriwo kyamala dda okubaawo; n'ekyo ekigenda okubaawo kyabaawo dda; era Katonda anoonya nate ekyo ekyayitawo. |
|
| 16 |
|
| Era nate nalaba wansi w'enjuba mu kifo eky'okusaliramu emisango ng'obubi bwali eyo; ne mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubi bwali omwo. |
|
| 17 |
|
| Ne njogera mu mutima gwange nti Katonda ye alisala emisango gy'omutuukirivu n'omubi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonna n'omulimu gwonna. |
|
| 18 |
|
| Ne njogera mu mutima gwange nti Kiba bwe kityo olw'abaana b'abantu Katonda alyoke abakeme, balabe nga bo bennyini bali ng'ensolo obusolo. |
|
| 19 |
|
| Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu kye kituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukako; ng'eyo bw'efa, n'oyo bw'afa bw'atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu; so abantu tebaliiko bwe basinga nsolo: kubanga byonna butaliimu. |
|
| 20 |
|
| Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate. |
|
| 21 |
|
| Ani amanyi omwoyo gw'abantu oba nga gulinnya mu ggulu, n'omwoyo gw'ensolo oba gukka wansi mu ttaka? |
|
| 22 |
|
| Kyennava ndaba nga tewali kintu kisinga kino obulungi, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo gwe mugabo gwe: kubanga ani alimukomyawo okulaba ebinaabangawo oluvannyuma lwe? |
|
|
|
|