EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu; |
| 2 |
| omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi. |
| 3 |
| Omuntu bw'azaala abaana kikumi (100), n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo. |
| 4 |
| Kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza; |
| 5 |
| wabula newakubadde aba talabye njuba era nga tagitegedde; ono ye aba n'okuwummula okusinga oli. |
| 6 |
| Weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi (1,000) emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi, bonna tebadda mu kifo kimu? |
| 7 |
| Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kw'akamwa ke, wabula okwegomba kwe tekukkuta. |
| 8 |
| Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? Oba omwavu amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu alina ki? |
| 9 |
| Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba; era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo. |
| 10 |
| Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu, so omuntu tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi. |
| 11 |
| Kubanga waliwo ebintu bingi ebyogera ku butaliimu, kale omuntu yeeyongera atya okugasa? |
| 12 |
| Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabangawo oluvannyuma lwe wansi w'enjuba? |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/ecclesiastes/006.mp3
12
6