|
| 1 |
|
| Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu. |
|
| 2 |
|
| Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe. |
|
| 3 |
|
| Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busannyusa omutima. |
|
| 4 |
|
| Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu. |
|
| 5 |
|
| Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru. |
|
| 6 |
|
| Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu |
|
| 7 |
|
| Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera. |
|
| 8 |
|
| Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala. |
|
| 9 |
|
| Toyangayirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru. |
|
| 10 |
|
| Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi. |
|
| 11 |
|
| Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba. |
|
| 12 |
|
| Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga annagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go. |
|
| 13 |
|
| Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola? |
|
| 14 |
|
| Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna e.kiriba oluvannyuma lwe. |
|
| 15 |
|
| Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe. |
|
| 16 |
|
| Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza? |
|
| 17 |
|
| Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka? |
|
| 18 |
|
| Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna. |
|
| 19 |
|
| Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga. |
|
| 20 |
|
| Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona. |
|
| 21 |
|
| Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira: |
|
| 22 |
|
| kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw'otyo wakolimira abalala. |
|
| 23 |
|
| Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala. |
|
| 24 |
|
| Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera? |
|
| 25 |
|
| Nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, era ng'obusirusiru ddalu: |
|
| 26 |
|
| era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n'ebitimba; n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye. |
|
| 27 |
|
| Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga: |
|
| 28 |
|
| emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga. |
|
| 29 |
|
| Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja. |
|
|
|
|