Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna. |
| 2 |
| Leka annywegere n’emimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo, |
| 3 |
| n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala. |
| 4 |
| Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Nga batuufu okukwegomba! |
| 5 |
| Ndi muddugavu, ndi mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi muli ng’eweema ez’e Kedali, era ng’entimbe za Sulemaani. |
| 6 |
| Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olw’okuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde. |
| 7 |
| Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo, ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu. Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo? |
| 8 |
| Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi, goberera ekkubo endiga lye zikutte, ogende oliisize embuzi zo ento, okumpi n’eweema z’abasumba. |
| 9 |
| Omwagalwa wange, nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo. |
| 10 |
| Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu, n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo. |
| 11 |
| Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza. |
| 12 |
| Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi. |
| 13 |
| Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange. |
| 14 |
| Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi. |
| 15 |
| Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba. |
| 16 |
| Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto. |
| 17 |
| Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule, n’enzooba zaffe nkanaga. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/songofsolomon/001.mp3
8
1