|
| 1 |
|
| Nze ndi kimuli kya mu ttale eky'omu kiwonvu ky'e Saroni, ndi ddanga ery'omu biwonvu. |
|
| 2 |
|
| Muganzi wange, mu bakazi ali ng'eddanga mu maggwa. |
|
| 3 |
|
| Ng'omucungwa mu miti egy'omu kibira, ne muganzi wange bw'ali mu balenzi. Nnyumirwa okutuula mu kisiikirize kyagwo, n'ebibala byagwo bimpoomera. |
|
| 4 |
|
| Yannyingiza mu ddiiro lye omuliirwa obubaga. Okwagala ye bbendera gye yampuubira. |
|
| 5 |
|
| Mumpe ndye ku mizabbibu emikalu, munkamulire ku micungwa nnyweko, kubanga okwagala kunzita kummalawo! |
|
| 6 |
|
| Omukono gwe ogwa kkono guli wansi w'omutwe gwange; n'omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatidde. |
|
| 7 |
|
| Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, mbalayiza empeewo n'enjaza ez'omu ttale: temugolokosanga wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka. |
|
| 8 |
|
| Mpulira eddoboozi lya muganzi wange! Laba, ajja abuukirabuukira ku nsozi, ajja azinira ku busozi. |
|
| 9 |
|
| Muganzi wange ali ng'empeewo, oba ng'ennangaazi ento. Laba, ayimiridde kumpi n'olukomera lwaffe, alingiza mu ddirisa, atunuulira mu kamooli. |
|
| 10 |
|
| Muganzi wange aŋŋamba nti: “Jjangu ggwe omulungi gwe njagala, situka omwagalwa tugende wamu, |
|
| 11 |
|
| kubanga ebiseera by'obutiti biibino byeggyeewo, n'enkuba eyise egenze; |
|
| 12 |
|
| era n'ebimuli kati wonna byanyizza. Buno bwe budde ebinyonyi mwe biyimbira, era n'amayiba gawulirwa nga gayimbira mu nsi yaffe. |
|
| 13 |
|
| Emitiini gitandise okubala. Empewo ejjudde akaloosa k'emizabbibu egimulisizza. Jjangu ggwe omulungi gwe njagala, situka tugende wamu. |
|
| 14 |
|
| Oli ng'ejjiba eryekwese mu njatika z'omu jjinja, mu kifo ekyekusifu eky'omu lwazi olugulumivu. Leka ndabe amaaso go, leka mpulire eddoboozi lyo kubanga ddungi, n'amaaso go gasanyusa. |
|
| 15 |
|
| Mutukwatire ebibe ebito era n'ebikulu, ebyonoona emizabbibu gyaffe egimulisizza. |
|
| 16 |
|
| Muganzi wange, ye wange, nange nze wuwe. Aliisiza amagana ge mu malanga, |
|
| 17 |
|
| okutuusa obudde lwe bunaakya, ne waggweerawo ddala enzikiza. Muganzi wange, kyusa odde ng'empeewo, oba ng'ennangaazi ento ku nsozi ez'e Beteli. |
|
|
|
|