Luganda Bible
|
| 1 |
| Ekiro ku kitanda kyange nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala: Namunoonya naye ne ssimulaba. |
| 2 |
| Ne njogera nti Naagolokoka kaakano ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo ne mu bifo ebigazi, Nanoonya omusajja emmeeme yange gw'eyagala: Namunoonya, naye ne ssimulaba. |
| 3 |
| Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba: Ne mbagamba nti Mulabye oyo emmeeme yange gw'eyagala? |
| 4 |
| Nnali mbayiseeko katono, Ne ndaba oyo emmeeme yange gw'eyagala: Ne mmunyweza ne ssikkiriza kumuta, Okutuusa lwe nnamuleeta mu nnyumba ya mmange, Ne mu kisenge ky'oyo anzaala. |
| 5 |
| Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza ez'omu ttale, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira. |
| 6 |
| Ani ono ajja ng'alinnya ng'ava mu ddungu afaanana empagi ez'emikka, Asiigibwa eby'akaloosa ebya mooli n'omugavu, N'eddagala lyonna ery'omusuubuzi? |
| 7 |
| Laba, ke kadyeri ka Sulemaani; Abasajja ab'amaanyi nkaaga bakeetoolodde, Ku basajja ab'amaanyi aba Isiraeri. |
| 8 |
| Bonna bakwata ekitala, ba magezi okulwana: Buli muntu yeesiba ekitala kye mu kiwato, Olw'entiisa ekiro. |
| 9 |
| Kabaka Sulemaani yeekolera eggaali Ey'emiti egy'oku Lebanooni. |
| 10 |
| Empagi zaayo yazikola za ffeeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwa ffulungu, Wakati waayo nga waalire n'okwagala, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi. |
| 11 |
| Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mutunuulire kabaka Sulemaani, Ng'alina engule nnyina gy'amutikkiridde ku lunaku kw'afumbiriddwa, Era ku lunaku omutima gwe kwe gusanyukira. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/songofsolomon/003.mp3
8
3