Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ekiro ku kitanda kyange naloota oyo gwe njagala, nga mmunoonya ne simuzuula. |
| 2 |
| Namalirira nsituke ŋŋende ntambule ekibuga, mu nguudo zaakyo ne mu mpya, mmunoonyeeyo gwe njagala. Namunoonya n'ambulayo. |
| 3 |
| Abakuumi abalawuna ekibuga, bandaba. Olwo ne mbuuza nti: “Mulabye ku mwagalwa wange?” |
| 4 |
| Nali naakabayitako bwe nti, gwe njagala ne mmulaba. Ne mmunyweza ne simuta, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, mu kisenge ky'oyo anzaala. |
| 5 |
| Mmwe abawala b'e Yerusaalemu, mbalayiza empeewo n'enjaza ez'omu ttale: temugolokosanga, wadde okuzuukusa okwagala, ng'ekiseera kyakwo ekituufu tekinnatuuka. |
| 6 |
| Oyo ani ayambuka okuva mu ddungu, ng'ali ng'empagi ey'omukka, ng'asiigiddwa ebyakawoowo ebya mirra n'omugavu, n'ebyakawoowo byonna ebyo omusuubuzi by'atunda? |
| 7 |
| Solomooni ye avaayo ng'asituddwa ku ntebe ye, eyeebunguluddwa abakuumi be nkaaga ab'omu batabaazi ba Yisirayeli abasingayo obuzira. |
| 8 |
| Bonna bakwasi ba bitala abamanyirivu mu kulwana. Buli omu yeesibye ekitala nga mwetegefu okulwana, bwe balumbibwa mu kiro. |
| 9 |
| Kabaka Solomooni yeekolera entebe ye ey'emiti egy'e Lebanooni. |
| 10 |
| Ebikondo byayo yakola bya ffeeza, ekyesigamibwako kya zaabu, ekituulibwako kya lugoye lwa kakobe olulukiddwa n'obukugu abakazi b'e Yerusaalemu. |
| 11 |
| Abawala b'omu Siyooni, mujje mulabe Kabaka Solomooni. Alina engule ku mutwe nnyina gy'amutikidde ku lunaku lw'embaga ye, olunaku lw'afuniddeko essanyu lye. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/songofsolomon/003.mp3
8
3