Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange, nalindirira emmeeme yange gw’eyagala, ne munoonya naye saamulaba. |
| 2 |
| Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga, mu nguudo ne mu bifo ebigazi; nanoonya emmeeme yange gw’eyagala, ne nnindirira naye saamulaba. |
| 3 |
| Abakuumi b’ekibuga abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti, “Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?” |
| 4 |
| Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala. |
| 5 |
| Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde. |
| 6 |
| Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu, afaanana ng’empagi ey’omukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu, okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi? |
| 7 |
| Laba, kye kigaali kya Sulemaani, ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga, abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri, |
| 8 |
| bonna balina ebitala, era bamanyirivu mu kulwana; buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye, nga beetegekedde entiisa ey’ekiro. |
| 9 |
| Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali eky’emiti egy’omu Lebanooni. |
| 10 |
| Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza, ne wansi waakyo nga wa zaabu, n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu; ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala, okw’abawala ba Yerusaalemi. |
| 11 |
| Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule, engule nnyina gye yamutikkira ku lunaku olw’embaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/songofsolomon/003.mp3
8
3