|
| 1 |
|
| Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange. Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange, Nywedde wayini wange n’amata gange. Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana. |
|
| 2 |
|
| Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.” |
|
| 3 |
|
| Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira? |
|
| 4 |
|
| Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka. |
|
| 5 |
|
| Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange, emikono gyange nga gitonnya mooli, n’engalo zange nga zikulukuta mooli, ku minyolo gy’ekufulu. |
|
| 6 |
|
| Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ng’avuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu. |
|
| 7 |
|
| Abakuumi baansanga bwe baali nga balawuna mu kibuga; baankuba, ne bandeetako ebinuubule, ne batwala n’ekyambalo kyange, abasajja abo abakuuma bbugwe. |
|
| 8 |
|
| Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita. |
|
| 9 |
|
| Owange, kiki muganzi wo ky’alina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi? Kiki muganzi wo kyasinza abalala n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo? |
|
| 10 |
|
| Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo. |
|
| 11 |
|
| Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona. |
|
| 12 |
|
| Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’emigga egy’amazzi, agaanaazibwa n’amata, ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi. |
|
| 13 |
|
| Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ng’amalanga agakulukuta mooli. |
|
| 14 |
|
| Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo. Omubiri gwe guli ng’amasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro. |
|
| 15 |
|
| Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ng’emivule gyayo. |
|
| 16 |
|
| Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi. |
|
|
|
|