BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Muganzi wo agenze wa, ayi nalulungi mu bakazi bonna? Muganzi wo yakutte liri wa, tumukunoonyezeeko? |
| 2 |
| Muganzi wange akkiridde mu nnimiro ye, mu kalimiro k'ebyakaloosa, alundire mu nnimiro, akuŋŋaanye amalanga. |
| 3 |
| Muganzi wange ndi wuwe, naye wange, oyo alundira mu malanga. |
| 4 |
| Oli mubalagavu, kabiite wange, oli nga Tiruza, oli mulungi nga Yeruzaalemu, otiisa ng'eggye eritaze. |
| 5 |
| Nzigyako amaaso go, kubanga gantengeza. Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi nga zikkirira okuva e Gileyaadi. |
| 6 |
| Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga nga zambuka okuva okunaaba, buli emu ezaala nnongo, mu zo temuli efiisa mwana. |
| 7 |
| Amatama go mu katimba, gali ng'ebiwayi by'ekkomamawanga. |
| 8 |
| Bakaakabaka bandiba nkaaga, abasebeyi kinaana, n'abawala embeerera sibabalika, |
| 9 |
| naye ejjiba lyange, omulungi ggero, teri amufaanana; omwana omu yekka owa nnyina, omuganzi ew'oyo eyamuzaala. Abawala baamulaba ne bamutenda omukisa; bakaakabaka n'abasebeyi ne bamutendereza. |
| 10 |
| Ani ono avaayo nga mmambya, omubalagavu ng'omwezi atangalijja ng'enjuba atiisa ng'eggye eritaze? |
| 11 |
| Naserengeta mu nnimiro y'ebinyeebwa, ndabe ebibaze mu biwonvu, ndabe oba emizabbibu gitojjedde, n'amakomamawanga nga gamulisizza. |
| 12 |
| Nali sinnekkaanya, ebirowoozo byange ne binsikambulayo, ne binteeka mu bigaali by'abantu bange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/songofsolomon/006.mp3
8
6