|
| 1 |
|
| Muganzi wo alaze wa, ggwe akira abakyala bonna obulungi? Muganzi wo yakutte lya wa tumukunoonyezeeko? |
|
| 2 |
|
| Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye, mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa, okulabirira ennimiro ye n’okunoga amalanga. |
|
| 3 |
|
| Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe; anoonyeza mu malanga. |
|
| 4 |
|
| Oli mubalagavu nga Tiruza, omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi, era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera. |
|
| 5 |
|
| Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya. Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi, eziserengeta okuva e Gireyaadi. |
|
| 6 |
|
| Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endiga eziva okunaazibwa; buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka. |
|
| 7 |
|
| Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye, buli ng’ebitundu by’amakomamawanga. |
|
| 8 |
|
| Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana, n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo, |
|
| 9 |
|
| ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo, mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina okusinga abalala, y’ansingira mu bonna. Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa; bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda. |
|
| 10 |
|
| Ani ono alabika ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye? |
|
| 11 |
|
| Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegereza okumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu, okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa, n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera. |
|
| 12 |
|
| Bwe nnali nkyali awo emmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange. |
|
| 13 |
|
| Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu; komawo, komawo tukutunuleko. Lwaki mutunuulira Omusulamu ng’abali ku mazina ga Makanayimu? |
|
|
|
|