Luganda Bible
|
| 1 |
| Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira! Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba. |
| 2 |
| Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu, Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa: Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano Eyonjebwa n'amalanga. |
| 3 |
| Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo. |
| 4 |
| Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga; Amaaso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu: Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Ddamasiko. |
| 5 |
| Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri, N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu; Kabaka emibumbo gyazo gimusiba. |
| 6 |
| Ng'oli mulungi, ng'owoomerera, Ai gwe njagala, olw'okusanyusa! |
| 7 |
| Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu. |
| 8 |
| Nayogera nti Naalinya mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo: Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa; |
| 9 |
| N'akamwa ko ng'omwenge ogusinga obulungi, Ogumirwa obulungi oyo gwe njagala, nga guseeyeeya, Nga guyita mu mimwa gy'abo abeebase. |
| 10 |
| Nze ndi wa muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze. |
| 11 |
| Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tusule mu byalo. |
| 12 |
| Tugende munsuku z'emizabbibu mu makya; Tulabe omuzabbibu oba nga giunulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza, N'emikomamawanga oba nga gyanyizza: Naakuweera eyo okwagala kwange. |
| 13 |
| Amadudayimu gawunya kaloosa, Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde, Bye nkuterekedde, ai muganzi wange. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/songofsolomon/007.mp3
8
7