1
Singa obadde nga muganda wange, Eyayonka amabeere ga mmange Bwe nnandikulabye ebweru, nandikunywegedde; Weewaawo, so tewandibaddewo eyandinnyoomye.
2
Nandikulese ne nkuyingiza mu nnyumba ya mmange, Eyandinjigirizza; Nandikunywesezza omwenge ogutabuddwamu eby'akaloosa, Ku mazzi g'ekkomamawanga lyange.
3
Omukono gwe ogwa kkono gwandibadde wansi w'omutwe gw'ange, N'omukono gwe ogwa ddyo gwandimpambaatidde.
4
Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, Muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, Okutuusa we kunaayagalira.
5
Mukazi ki ono ajja ng'alinnya okuva mu ddungu, Nga yeesigama ku muganzi we? Nakuzukusa wansi w'omucungwa: Eyo nnyoko gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumirwa oyo eyakuzaala.
6
Nteeka ku mutima gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; Obuggya bwenkana amagombe obukambwe: Okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, Okwokya kwennyini okwa Mukama.
7
Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta: Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Yandinyoomereddwa ddala.
8
Tulina mwannyinaffe omuto, Era tannaba na mabeere: Tulimukola tutya mwannyinaffe Ku lunaku lwe balimwogererezaako?
9
Oba nga bbugwe, Tulimuzimbako ekigo kya ffeeza, Era oba nga luggi, Tulimubikkako embaawo ez'emivule.
10
Ndi bbugwe, n'amabeere gange gali ng'ebigo byako: Ne ndyoka mbeera mu maaso ge ng'omuntu alabye emirembe.
11
Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Yasigira olusuku abalimi; Olw'ebibala byamu buli muntu yasalirwa ebitundu ebya ffeeza lukumi.
12
Olusuku lwange olw'emizabbibu, olwange, luli mu maaso gange; Ggwe, Sulemaani, onoobanga n'olukumi olwo, N'abo abakuuma ebibala byamu bikumi bibiri.
13
Ggwe abeera mu nnimiro, Banno bawuliriza eddoboozi lyo: Limpulize.
14
Yanguwa, muganzi wange, Obeere ng'empeewo oba ennangaazi ento Ku nsozi ez'eby'akaloosa.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013