Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Buno bwe bubaka obufa ku Ggwanga lya Buyudaaya n'Ekibuga Yerusaalemu, Katonda bwe yawa Yisaaya mutabani wa Amozi, mu kiseera ky'obufuzi bwa bassekabaka ba Buyudaaya bano: Wuzziya, Yotamu, Ahazi, ne Heezeekiya. 26:1-23; 27:1-9; 28:1-27; 29:1–32:33 |
| 2 |
| Mukama yagamba nti: “Ggwe eggulu wulira, naawe ensi tega okutu, muwulirize kye ŋŋamba! Abaana be nayola ne mbakuza, banjeemedde. |
| 3 |
| Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekifo mukama waayo w'agiriisiza, naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, okumanya kwabwe tekutuuka awo. Abantu bange tebalowooza.” |
| 4 |
| Zikusanze ggwe Eggwanga eryonoonyi, abantu abeetuumyeko ebibi, bazzukulu b'abakozi b'ebibi, abaana aboonoonefu. Muvudde ku Mukama. Munyoomodde Omutuukirivu wa Yisirayeli, ne mumukuba amabega. |
| 5 |
| Lwaki mwongera okuba abajeemu? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Yisirayeli, omutwe gwo gwonna gujjudde biwundu, omutima gwo gunafuye. |
| 6 |
| Okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, tolinaawo katundu kalamu. Ojjudde binuubule, bikalabule, na biwundu. Ebiwundu byo si binaaze, wadde okusibibwako akawero. Tewali ddagala libiteekeddwako. |
| 7 |
| Ensi yammwe yonna efuuse matongo, n'ebibuga byammwe byokeddwa omuliro ne bisirikka. Abagwira balumbye ensi yammwe ne bagiwamba, era ne bazikiriza ebirimu, mmwe nga mulaba. |
| 8 |
| Siyooni kisigadde ng'akasiisira akali mu nnimiro y'emizabbibu, ng'ekiyumba ekikuumirwamu ennimiro y'emyungu, oba ng'ekibuga ekizingiziddwa. |
| 9 |
| Singa Mukama Nnannyinimagye teyatulekerawo ku bantu abatono ennyo b'atalizza, twandibadde ng'ab'e Sodoma, twandifuuse ng'ab'e Gomora. |
| 10 |
| Muwulire Mukama ky'agamba, mmwe abakulembeze ba Yerusaalemu, abali ng'ab'e Sodoma; mutege amatu mmwe abantu abali ng'ab'e Gomora, muwulire ebyo Katonda waffe by'abayigiriza. |
| 11 |
| Mukama agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebingi, bingasa ki? Neetamiddwa ebitambiro ebyokebwa eby'endiga ennume, n'amasavu g'ensolo zammwe ezassava. Saagala musaayi gwa nte, wadde ogw'endiga ento, n'ogw'embuzi ennume. |
| 12 |
| Ani yabalagira eky'okujjanga obuzzi okulabika mu maaso gange, nnyini okulinnyirira empya zange? |
| 13 |
| Temwongera kuleeta bitone bitalina makulu. Neetamiddwa obubaane bwe munjotereza, n'embaga zammwe ez'Okuboneka kw'Omwezi, ne Sabbaato zammwe, era n'okuyita enkuŋŋaana. Sisobola kugumiikiriza nkuŋŋaana za ddiini, wamu n'ebibi. |
| 14 |
| Nkyayira ddala embaga zammwe ez'Okuboneka kw'Omwezi, n'ez'ennaku zammwe enkulu. Mbyetamiddwa, nkooye okubigumiikiriza. |
| 15 |
| “N'olwekyo bwe munaagololanga emikono gyammwe nga muliko kye munsaba, sijjanga kubatunuulira, era ne bwe munaasabanga okwenkana wa, sijjanga kuwuliriza, kubanga engalo zammwe zisaabaanye omusaayi. |
| 16 |
| Munaabe, mutukule. Mukomye obutali butuukirivu bwonna bwe ndaba mukola. Mulekere awo okukola ebibi, |
| 17 |
| muyige okukolanga ebirungi. Mufube okukolanga ebituufu, mugololenga abanyigiriza abalala, mulwanirirenga bamulekwa, muwolerezenga bannamwandu.” |
| 18 |
| Mukama agamba nti: “Kale mujje tuteese, tukkaanye. Ebibi byammwe ne bwe binaaba ebimyufu ng'omusaayi, nja kubanaaza mutukule ng'omuzira. Ne bwe binaaba bya langi mmyufu enkwafu, binaayamuka ne biba byeru ng'ennyange. |
| 19 |
| Bwe munaabanga abagonvu era abawulize, munaalyanga ebirungi ensi yammwe by'ebabaliza. |
| 20 |
| Naye bwe muneeremanga ne mujeema, munattibwanga. Nze Mukama, Nze njogedde.” |
| 21 |
| Ekibuga ekyali ekyesigwa, nga kifuuse ng'omukazi omwenzi! Edda ekyali kijjuddemu abantu abagoberera obwenkanya era abakola ebituufu, kaakati kirimu batemu. |
| 22 |
| Yerusaalemu, wali wa muwendo nga ffeeza, naye kati toliiko ky'ogasa; oli ng'omwenge ogutabuddwamu amazzi. |
| 23 |
| Abakulembeze bo bajeemu, era mikwano gya babbi. Bafa ku nguzi na ku birabo ebibaweebwa. Tebafaayo kulwanirira bamulekwa, wadde okuwuliriza bannamwandu bwe baleeta ensonga zaabwe. |
| 24 |
| Kale Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, Omuzira wa Yisirayeli, agamba nti: “Nja kuwoolera eggwanga ku mmwe abalabe bange, muleme kuddayo kuntawaanya. |
| 25 |
| Nja kubakolako, mbasengejje ng'ekyuma bwe kisengejjebwa, mbamalemu obukyafu bwammwe bwonna. |
| 26 |
| Nja kubawa abakulembeze n'abawi b'amagezi abalungi, nga bali be mwalina edda. Olwo Yerusaalemu kiriddamu okuyitibwa ekitukuvu era ekyesigwa.” |
| 27 |
| Mukama omwenkanya era omutuukirivu, ajja kununula Yerusaalemu, n'abaamu bonna abakyuka ne beenenya. |
| 28 |
| Wabula abajeemu n'abakola ebibi, balizikiririzibwa wamu, era n'abo abeggya ku Mukama, balimalibwawo. |
| 29 |
| Ensonyi ziribakwata mmwe olw'emiti gye mwasinzanga, n'olw'ennimiro ze mwawongera balubaale. |
| 30 |
| Muliba ng'omuti oguwotoka amakoola, era ng'ennimiro gye batafukirira. |
| 31 |
| Ab'amaanyi baliba ng'essubi ekkalu, ebibi bye bakola bibe ng'ensasi z'omuliro, baggyiire wamu nabyo, era tewaliba ayinza kuziyiza kuzikirizibwa kwabwe. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/isaiah/001.mp3
66
1