1
Okwolesebwa kwa Isaaya omwana wa Amozi, kwe yalabanga ku Yuda ne Yerusaalemi, mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.
2
Wulira, ggwe Eggulu, era tega okutu, ggwe Ensi, kubanga Mukama ayogedde: nnayonsa ne ndera abaana, naye ne banjeemera.
3
Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekisibo kya Mukama waayo; naye Isiraeri tammanyi, abantu bange tebalowooza.
4
Woowe eggwanga eririna ebibi, abantu abajudde obutali butuukirivu, ezzadde ery'abakola ebibi, abaana aboonoona! balese Mukama, banyoomye Omutukuvu wa Isiraeri, basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5
Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Omutwe gwo gwonna gulwadde, n'omutima gwo gwonna gunafuye.
6
Okuva munda w'ekigere okutuuka ku mutwe temuli bulamu wabula ebiwundu, n'okuzimba, n'amabwa agatirika omusaayi, agatanyigibwanga, agatasibibwanga, wadde okusiigibwako eddagala.
7
Ensi yammwe esigadde matongo, ebibuga byammwe byokeddwa omuliro; Ensi yammwe, ab'amawanga bagiwamba nga mulaba, ne basaanyawo byonna ebigirimu.
8
Era omuwala wa Sayuuni alekeddwa ng'ensiisira eri mu lusuku lw'emizabbibu, ng'ekiwumulirwamu ekiri mu nnimiro y'emyungu, ng'ekibuga ekizingiziddwa.
9
Mukama ow'eggye singa teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo, twandibadde nga Sodomu, twandifaananye nga Ggomola.
10
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafuga Sodomu! mutege okutu eri amateeka ga Katonda waffe, mmwe abantu ab'e Ggomola!
11
Zigasa ki ssaddaaka zammwe enkumu ze munsalira? bw'ayogera Mukama; Nzikuse endiga ennume enjokye eziweebwayo n'amasavu g'ensolo zammwe ensibe; so sisanyukira musaayi gwa nte, oba ogw'endiga, oba ogw'embuzi ennume,
12
Bwe mujja okulabika mu maaso gange, ani eyabasalira kino, okulinnyirira empya zange?
13
Temuleetanga nate ebitone ebitaliimu. obubaane bwa muzizo gye ndi; emyezi egibonese ne Ssabbiiti n'okuyita amakuŋŋaaniro, Ssisobola kugumiikiriza butali butuukirivu na kukuŋŋaana kwa ddiini.
14
Emyezi gyammwe egibonese n'embaga zammwe eziragiddwa emmeeme yange ebikyaye, bifuuse mugugu gye ndi; nkooye okubigumiikirizanga.
15
Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe nnabakwekanga amaaso gange, era ne bwe munaasabanga ennyo ssiiwulirenga emikono gyammwe gijjude omusaayi.
16
Munaabe, mwerongoose; muggyirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi. Mukomye okukola obubi.
17
Muyige okukolanga obulungi. Munoonyenga amazima. Mudduukirirenga abajoogebwa, mulwanirirenga atalina kitaawe, muwolerezenga nnamwandu.
18
Mujje nno, tuteese ffembi, bw'ayogera Mukama: ebibi byammwe ne bwe biba ng'olugoye olumyufu, binaaba byeru ng'omuzira; ne bwe binaaba bikwafu nga langi emyufu, binatukula ng'ebyoya by'endiga.
19
Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi eby'ensi:
20
naye bwe munaagaananga ne mujeemanga, munaaliibwanga n'ekitala; kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21
Ekibuga ekyesigwa nga kifuuse omwenzi! oyo eyajjulanga amazima! obutuukirivu bwatulanga mu ye, naye kaakano kirimu bassi.
22
effeeza yo efuuse masengere, omwenge ogutabuddwamu amazzi.
23
Abalangira bo bajeemu, mikwano gya babbi. Buli muntu yeegomba enguzi, era banoonya kuweebwa birabo; tebalwanirira atalina kitaawe, n'ensonga ya nnamwandu tetuuka gyebali.
24
N'olwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow'eggye, Ow'amaanyi owa Isiraeri, nti, “Nja kufuka obusungu ku abalabe bange, era ndiwalana eggwanga ku abo abankyawa.
25
era ndikuteekako omukono gwange, ne nnongooseza ddala amasengere go gonna, nkufuule ekintu ekirungi.
26
era ndikomyawo abalamuzi bo ng'olubereberye, n'abateesa ebigambo byo nga mu kusooka; oluvannyuma oliyitibwa kibuga kya butuukirivu, ekibuga ekyesigwa.”
27
Sayuuni alinunulibwa mu mazima, na beenenya mu ye n'obutuukirivu.
28
Naye abajeemu n'abalina ebibi balizikiririra wamu, n'abo abaleka Mukama balimalibwawo.
29
Kubanga ensonyi ziribakwata olw'emivule gye mwegomba, era muliswazibwa olw'ensuku ze mweroboza.
30
Kubanga muliba ng'omuvule oguwotoka amakoola, era ng'olusuku omutali mazzi.
31
Era ow'amaanyi aliba ng'enfuuzi, n'omulimu gwe ng'olusasi olw'omuliro; era byombi biriggira wamu, so tewaliba abizikiza.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.