Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alissaawo nate omukono gwe omulundi ogw'okubiri okukomyawo abalifikkawo ku bantu be abalisigalawo, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby'omu nnyanja.
Era aliwanikira amawanga ebendera, era alikuŋŋaanya abaagobebwa mu Isiraeri, n'aleeta wamu abaasaasaanyizibwa ku Yuda okubaggya mu nsonda ennya ez'ensi.
Era balibuuka ne bagwa ku kibegabega ky'Omufirisuuti ebugwanjuba; balyetaba okunyaga abaana b'ebuvanjuba: baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n'abaana ba Amoni balibagondera.
Era waliba oluguudo eri abo abalifikkawo ku bantu be, abalisigalawo, okuva mu Bwasuli; nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku lwe yalinnyirako okuva mu nsi y'e Misiri.