×

Luganda Bible 2003

Isaaya 11

1
Ng'akatabi bwe kasibukira ku kikonge ky'omuti ogutemeddwa, ne mu bazzukulu ba Yesse bwe mulisibukamu Kabaka.
2
Mwoyo wa Mukama aliba ku ye okumuwa amagezi n'okutegeera, era n'okubuulirira. Alimuwa amaanyi era alimusobozesa okumanya Mukama n'okumussangamu ekitiibwa.
3
Essanyu lye linaabeeranga mu kugondera Mukama. Taasalenga misango nga yeesigama ku byakungulu by'alaba oba ku by'awulidde obuwulizi.
4
Kyokka anaasalanga emisango gy'abaavu ng'agoberera mazima, era anaataasanga eby'abatalina mwasirizi ng'akolera ku bwenkanya. Aliwa ekiragiro mu nsi, abantu ne babonerezebwa era ababi ne battibwa.
5
Obufuzi bwe alibwesigamya ku bwenkanya na ku bwesigwa.
6
Omusege n'endiga ento binaabeeranga wamu mu ddembe, era engo n'embuzi ento binaagalamiranga wamu. Ennyana empologoma, n'ente eyassava, zinaabanga wamu ng'omwana omuto ye azirunda.
7
N'ente n'eddubu zinaaliranga wamu, n'abaana baazo bagalamirenga wamu mu ddembe. N'empologoma eneeryanga muddo ng'ente.
8
Omwana akyayonka anaazannyiranga ku kinnya ky'enswera, n'omuto eyaakava ku mabeere, anaateekanga omukono gwe mu kinnya omuli essalambwa.
9
Ku Siyooni, Olusozi lwa Katonda Olutukuvu, tewaliba kikola bulabe wadde okuzikiriza, kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng'ennyanja bw'ejjula amazzi.
10
Olunaku lulituuka, oyo asibuka mu Yesse, n'aba akabonero eri amawanga. Amawanga ago galikuŋŋaanira w'ali, era ekifo mw'afugira kiriba kyakitiibwa.
11
Olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama aliddamu okukozesa obuyinza bwe, abantu be abaliba basigaddewo n'abakomyawo ng'abaggya mu Assiriya, ne mu Misiri ne mu Paturoosi, ne mu Kuusi, ne mu Elamu, ne mu Sinaari, ne mu Hamati, ne mu bizinga ebiri mu nnyanja.
12
Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Yisirayeli ne mu Buyudaaya, ng'abaggya gye baasaasaanyizibwa mu njuyi zonna ennya ez'ensi.
13
Obuggya bw'Abeefurayimu buliggwaawo, n'abalabe ba Buyudaaya balizikirizibwa. Obwakabaka bwa Yisirayeli tebulikwatirwa bwakabaka bwa Buyudaaya buggya, ne Buyudaaya teriba mulabe wa Yisirayeli.
14
Balyetaba wamu ne balumba Abafilistiya ebugwanjuba, era ne banyaga abantu ab'ebuvanjuba. Baliwangula Abeedomu n'Abamowaabu, era Abammoni balibagondera.
15
Mukama alikozesa empewo ye ey'amaanyi, n'akaliza ddala ekikono ky'ennyanja y'e Misiri. Era aligolola omukono gwe ku Mugga Ewufuraate, n'agwawulamu obugga musanvu, abantu bwe basomoka nga tebatobye na bigere,
16
ne walyoka wabaawo oluguudo, abantu be Abayisirayeli abaliwonawo mwe baliyita, nga bava mu Assiriya, nga bwe waaliwo olwo Abayisirayeli mwe baayita, nga bava mu nsi y'e Misiri.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes