Naye anaasaliranga abaavu emisango ng'agoberera amazima, era mu bwenkanya anaasaliranga abawombeefu abali ku nsi. Aliwa ekiragiro mu nsi abantu okubonerezebwa, era ababi balittibwa.
Awo olunaku olwo bwe lulituuka, Mukama aligolola nate omukono gwe omulundi ogwokubiri okukomyawo abasigalawo ku bantu be, ng'abaggya mu Bwasuli, mu Misiri, mu Pasuloosi, mu Kuusi, mu Eramu, mu Sinali, mu Kamasi ne mu bizinga ebiri mu nnyanja.
Mukama aliwanikira amawanga bbendera, okubalaga nti alikuŋŋaanya n'aleeta wamu abo abaagobebwa mu Isiraeri ne mu Yuda, ng'abaggya mu nsonda ennya ez'ensi gye baasaasaanyizibwa.
Walibaawo oluguudo, abantu be aba Isiraeri abaasigalawo mwe baliyita nga bava mu Bwasuli, nga bwe lwaliwo eri Isiraeri ku lunaku luli nga bava mu nsi y'e Misiri.