×

Luganda Bible

Isaaya 12

1
Era ku lunaku luli olyogera nti Naakwebaza, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa.
2
Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n'oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange.
3
Kyemunaavanga musenanga n'essanyu amazzi mu nzizi ez'obulokozi.
4
Era ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe.
5
Mumuyimbire Mukama; kubanga akoze eby'ekitiibwa: ekyo kimanyibwe mu nsi yonna.
6
Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes