Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Olunaku olwo bwe lulituuka, abantu baliyimba nti: “Nnaakwebaza, ayi Mukama. Ggwe eyali ansunguwalidde, obusungu bwo buweddewo, era kaakati onsanyusizza. |
| 2 |
| Ddala Katonda ye Mulokozi wange, nnaamwesiganga ne sitya. Mukama Oyo ow'Olubeerera ge maanyi gange, era Ye gwe nnyimba, Ye wuuyo Omulokozi wange. |
| 3 |
| Ng'amazzi amalungi bwe gasanyusa abayonta, n'abantu ba Katonda bwe basanyuka ng'abalokodde.” |
| 4 |
| Olunaku lulituuka ne mugamba nti: “Mwebaze Mukama, mumutendereze. Mumanyise ab'omu mawanga ebyamagero by'akola. Mubategeeze nga bw'ali oweekitiibwa. |
| 5 |
| Muyimbe nga mutendereza Mukama, olw'ebikulu by'akoze. Mubimanyise ensi yonna. |
| 6 |
| Muyimbe n'essanyu musaakaanye mmwe abatuuze b'omu Siyooni, kubanga Katonda Omutuukirivu owa Yisirayeli, mukulu, ate ali wakati mu mmwe.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/isaiah/012.mp3
66
12