Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ku lunaku olwo oligamba nti, “Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda; newaakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi. |
| 2 |
| Laba Katonda bwe bulokozi bwange; nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.” |
| 3 |
| Munaasenanga n’essanyu amazzi okuva mu nzizi ez’obulokozi. |
| 4 |
| Era ku lunaku olwo mulyogera nti, “Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe. |
| 5 |
| Mumuyimbire Mukama Katonda ettendo kubanga akoze eby’ettendo; muleke kino kimanyibwe mu mawanga gonna. |
| 6 |
| Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu ggwe omuntu w’omu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/isaiah/012.mp3
66
12