Luganda Bible
|
| 1 |
| Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo; kubanga mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo. |
| 2 |
| Ayambuse e Bayisi ne Diboni, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga: Mowaabu awowogganira Nebo ne Medeba: ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa. |
| 3 |
| Beesibira ebibukutu mu nguudo zaabwe: waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu awowoggana, ng'akaaba nnyo amaziga. |
| 4 |
| Ne Kesuboni alira, ne Ereyale; eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi: basserikale ba Mowaabu kyebava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye. |
| 5 |
| Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya: kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira. |
| 6 |
| Kubanga amazzi ag'e Nimulimu galirekebwawo: kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo, tewali kintu kimera. |
| 7 |
| Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu. |
| 8 |
| Kubanga okukaaba kwetoolodde ensalo za Mowaabu; okuwowoggana kwakwo kutuuse e Yegulayimu, n'okuwowoggana kwakwo kutuuse e Beererimu. |
| 9 |
| Kubanga amazzi ag'e Dimoni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Dimoni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/isaiah/015.mp3
66
15