Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Buno obubaka bufa ku Mowaabu. Ebibuga bya Mowaabu Ari ne Kiiri birizikirira mu kiro kimu, ne bifuuka matongo. 2:8-11 |
| 2 |
| Abantu b'e Diboni balinnye akasozi, bakaabire eyo amaziga. Abamowaabu bakungubagira ebibuga Nebo ne Medeba. Era okulaga obunakuwavu, basazeeko enviiri n'ebirevu. |
| 3 |
| Abantu bonna mu nguudo, bikutiya bye bambadde. Waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu bibangirizi by'ebibuga biwoobe bye bakuba, nga bakaaba nnyo amaziga. |
| 4 |
| Ab'e Hesubooni ne Eleyaale batema miranga myereere, era eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuukira ddala e Yahazi. N'abaserikale ba Mowaabu bakaaba nga baleekaana, olw'encukwe muli ebakubye. |
| 5 |
| Nnumirwa Abamowaabu abo! Abakungu baabwe baddukira e Zowari, n'e Egulaati Selisiya. Abamu bambukidde mu kkubo ly'e Luhiiti nga bambuka bakaaba amaziga. Abalala bakutte ly'e Horonayimu, nga bakaaba olw'obutaba na ssuubi lya kuwona. |
| 6 |
| Akagga Nimurimu kakalidde. Omuddo ku mabbali gaako guwotose, ebimera ebigimu biweddewo, tewakyali kintu kimerawo. |
| 7 |
| Ebintu ebingi bye bafunye, n'ebyo bye baali baterese, kyebaliva babiddusa nga babiyisa mu Kiwonvu ky'emiti egy'enzingu. |
| 8 |
| Okukaaba kuwulirwa wonna ku nsalo za Mowaabu, okuwoggana kwayo kuwulirwa ne mu Yegulayiimu, ne mu Beereliimu. |
| 9 |
| Amazzi g'e Dimoni gajjudde omusaayi, era Mukama alireeta n'akabi akalala ku bantu baayo. Empologoma zirirya abaliwonawo ku Bamowaabu, abasigaddewo mu nsi eyo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/isaiah/015.mp3
66
15