×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 15

1
Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa kirimalibwawo. Mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu nakyo kirizikirizibwa kirimalibwawo.
2
Abantu b'e Diboni bambuse, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga; Mowaabu akungubagira Nebo ne Medeba. Ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa.
3
Beesibye ebibukutu mu nguudo zaabwe, waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu akuba ebiwoobe, ng'akaaba nnyo amaziga.
4
Kesuboni ne Ereyale bakaaba, eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi; basserikale ba Mowaabu kyebaava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye.
5
Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya, kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira.
6
Kubanga amazzi ag'e Nimulimu galirekebwawo, kubanga omuddo guwotokedde ddala, omuddo omugonvu guggwaawo, tewali kintu kimera.
7
Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu.
8
Kubanga okukaaba kwetoolodde ensalo za Mowaabu; okukaaba kwakwo kutuuse e Yegulayimu, n'ebiwoobe bituuse e Beererimu.
9
Kubanga amazzi ag'e Diboni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Diboni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes