×

Luganda Bible 2003

Isaaya 16

1
Okuva mu Kibuga Seela ekiri mu ddungu, muweereze ekirabo eky'endiga ento eri Oyo afuga mu Yerusaalemu.
2
Abamowaabu balindira ku mbalama z'Omugga Arunoni, nga babungeetera okwo ng'ennyonyi ezigobeddwa mu kisu ne zisaasaana.
3
Bagamba ab'omu Buyudaaya nti: “Mutubuulire eky'okukola. Mutubikkirire ng'omuti oguwa ekisiikirize mu ttuntu ery'ekyeya. Muleke twewogome mu kyo. Tuli babungeese, mutukweke aweekusifu we bataatulabe.
4
Mutuleke tubeere mu nsi yammwe mutuwonye oyo atuzikiriza, kubanga okunyigiriza n'okuzikiriza bwe birikoma, abo abanyagulula ensi baligenda.”
5
Olwo omu ku b'ezzadde lya Dawudi, alituula ku ntebe ey'obwakabaka. Alifuga abantu nga musaasizi, era ng'alamuza mazima. Aliba mwangu mu kukola ebituufu, era alifugisa bwenkanya.
6
Ab'omu Buyudaaya bagamba nti: “Tuwulidde Abamowaabu nga bwe bali abeekuza. Tumanyi nga beekulumbaza nnyo, era beepanka, kyokka beewaanira bwereere.”
7
Abamowaabu balikaaba, bonna balikaaba olw'okubonaabona. Balinakuwala bwe balijjukira emmere ennungi gye baalyanga mu Kibuga Kiiri Hareseeti. Balituuka okuterebuka.
8
Eby'omu nnimiro z'e Hesubooni biwotose, era n'emizabbibu gy'e Sibuma. Egyo mwe mwasogolwanga omwenge ogwatamiizanga abafuzi b'amawanga. Amatabi gaagyo gaalanda okutuukira ddala e Yazeri ne gatuuka mu ddungu, ne galanda ne ku ludda olulala, ne gasomoka Ennyanja Enfu.
9
Kale ndikaabira emizabbibu gy'e Sibuma, nga bwe ndikaabira Yazeri. Ndifukumula amaziga olwa Hesubooni n'olwa Eleyaale, kubanga amakungula gammwe galisaanikirwa emiranga gy'olutalo.
10
Kaakano tewali asanyuka mu misiri emigimu, tewali ayimba olw'essanyu mu nnimiro z'emizabbibu. Tewali asogola mizabbibu kugikolamu mwenge. Nkomezza emizira gy'abasogozi.
11
Kyenva nnyolwa olwa Mowaabu, ne nennyamira olwa Kiiri Heresi.
12
Abamowaabu balyekooyeza bwereere okugenda mu bifo ebigulumivu okusaba balubaale baabwe. Tebalifunamu mugaso.
13
Obwo bwe bubaka Mukama bwe yawa ku Mowaabu edda.
14
Naye kaakano Mukama agamba nti: “Emyaka esatu, ng'egiragaanibwa oyo akolera empeera, oluliggwaako, ekitiibwa kya Mowaabu kiriba tekikyaliwo. Ku bantu ba Mowaabu abangi, waliba wasigaddewo batono nnyo, era nga tebakyalina maanyi.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes